BULI olukya eby’obufuzi mu Disitulikiye ye Mukono by’eyongera okutaama, era abaana enzaalwa mu bitundu eby’enjawulo bongera okuvaayo okwesogga olw’okaano, okusobola okukikirira abantu baabwe mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu.
Mu Ssaza lye Nakifuma abantu bangi bavuddeyo okuvuganya nga kiri eri batuuze baayo okusalawo ku muntu agenda okubakulembera mu kisanja ekya 2021-2026.
Kuluno tukuletedde munnamawulire Ssimbwa Fred Kaggwa, omuvubuka azze namaanyi okuvuganya Hon. Kafeero Sekitoleko omubaka aliko mu kiseera kino.
Ssimbwa gwe twasanze ku kyalo Nkulagirire era kwazaalibwa yanyonyodde bwati ku bimukwatako;
Ye nze Ssimbwa Fred Kaggwa, nazalibwa nga 6.11.1980 ku kyalo Nkulagirire ekisangibwa mu muluka gwe Nabalanga mu gombolola ye Nabbaale, Nakifuma Mukono.
Kitange ye mugenzi Henry Kaggwa Kakinda ne maama Teopisita Kaggwa nga bombi ba ku kyalo Nkulagirire, era nga nze mwana owo 8 mu maka ga kitange.
Okusoma kwa Ssimbwa
Natandika okusoma kwange mu ssomero lya Nbalanga pulayimale eyo namalayo emyaka 2 ne neyongerayo mu ssomero lya Bamusuuta P/Selisangibwa e Ndese mu gombolola ye Kasawo nga eyo gye natuulira eky’omusanvu.
Nzijukira nti eno twasomanga nnyo era ne mpita bulungi ne ngenda mu ssomero lya Nakanyonyi SS gye natuulira siniya ey’okuna ne y’omukaaga.
Bwe namaliriza yadde nga nali mpise bulungi naye bazadde bange tebaalina nsimbi zisobola kunyongerayo, nga kino kyandetera okutuula omwaka mulamba naye nga ekilooto ky’okweyongerayo okusoma nkyakilina mu mutwe.
Wakati mu kusala amagezi nasalawo okunoonya ku Kojja wange Sunday Omunyu eyali abeera e Kazinga Namanve ne mufuna nga mu kiseera ekyo yali akolera mu katale e Nakawa ne mutegeeza nti nali ntudde waka nga sisoma era namunyonyola nti mu kiseera ekyo nali neetaaga mulimu mwe nsobola okufuna sente ezinzizaayo mu ssomero.
Kojja yantegeeza nti omulimu agulina era enkeera waalwo twakeera nnyo okugenda mu katale e Nakawa gye yantegereza nti nali ngenda kukola mulimu gwa kuyimba butunda na nanaansi era nga buli lunaku nali wakufunanga ensimbi 3000/= eza Uganda.
Omulimu nagukkiriza era ne gunyaguyira nnyo kubanga tegwalimu kuteekamu ntandikwa yonna, ate nga omuntu nayagala nnyo okuba nga mannya nnyo ekibuga.
Buli ku makya nagendanga e Nakawa ne nkola olweggulo natambuzanga bigere okudda e Kazinga kyokka ekyewunyisa nali sifaayo nnyo kubanga akasente kange baalinga bakampadde nga ate nina okukatereka.
Oluvanyuma era kojja wange yantegeeza nga bwe twali tugenda okutandika okuzimba nga nze muwereza ku bizimbe nga Poota, salonzalonza nagenderewo ne tutandika era nga ansasula ensimbi 2000/= buli lunaku nazo era zanyamba nnyo kubanga buli kasente ke nakwatangako engalo nga nkatereka, kubanga ekirooto kyange eky’okugenda ku Yunivasite nali nkyakirina.
Ssimbwa yeyunga ku katale ka Owino mu Kampala
Bwe nalaba nga eby’okuzimba tebigenda ate nga twazimbanga mu byalo songa ekigendererwa kyange kyali kya kumanya nnyo Kampala nasalawo okwegatta ku katale ka Owino ne nfunayo omulimu gw’okuyimba engoye era nga omuntu eyampa omulimu ogwo baali bamuyita Katumba Fred era twakola naye emirimu mingi.
Mu kukula kwange nali sili muntu wa kwejalabya nnyo era kyanyamba okutereka akasente kange, okutuusa bwe nafuuka omutembeeyi we mijoozi oba ziyite (T-Shirts), omulimu gwe natandika ne nsimbi 20,000/= zokka.
Wano natandika okunoonya sente n’obumalirivu obwekitalo, kubanga nali nkyakuumye ekirooto kyange eky’okudda mu ssomero, era mukama nanyamba ne nfunamu obusente obwegasa ne wabaawo muganda wange Sonko Misuseera eyansomera eby’okusuubula ente mu lufula.
Bwe natuuka mu lufula ekyamazima nasanga abaana eri bakozesa sente nnyingi ze saalina mu kiseera ekyo, ne bampa amagezi okutandikira mu kusala ebyenda byente, gwe nakola era ne ngula essimu yange eyasooka, olwo nenfuukira ddala musajja wa mulembe.
Neyongerayo n’omulimu gw’okusala ebyenda era negumpeera ddala sente, ne ntandika n’okutikka ente ezange nga nzireeta mu lufula e Kampala.
Ssimbwa afuuka atya munnamawulire
Natandika okufuka ekirowoozo ky’okukola ku Radio, era lumu ne ngenda ku Radio ya Dembe FM ne nsangayo omukulu Bills Ndaboijere gwe baayitanga bbuto ddene nangezesa naye nantegeeza nti baali tebasobola kuntwala ekiseera ekyo.
Neeyongerayo ku Family Radio gye nasanga Omubaka Lukyamuzi David Kalwanga mu kiseera ekyo ye yali akuulira ebiwerezebwa ku mpewo era nampa amagezi okweyunga ku kitongole kye birango ekya Radia nange kye nakola, era ne tunoonya ebirango nga omwezi gwagenda okuggwako nga nze nsinze okuleeta ensimbi ennyingi mu kkampuni.
Oluvanyuma neegatta ku Prime Radio era eyali agikulira mwami Moses Malege nampa omulimu mu kitongole kye birangone nkola emirimu gyonna bulungi, kyokka nga yadde nali nkola ne Radio naddayo mu Owino era ne nziramu okusuubula engoye nga bwe nkola ne gya Radio.
Prime Radio yampa omukisa okusoma Diploma mu mawulire era naddayo e Nkulagirire ne nkimayo empapula zange ne nzikubaku enfuufu era ne bampa ekifo ku Ttendekero lya Prime institute of applied Technology ne nkola Diploma yange mu mawulire nagenda okuvaayo nga nkuguse mu mawulire.
Mukwano gwange Kalwanga yeyunga ku Radio ya Dembe era nampita tukole ffembi yadde nga nali nkyakola ku Prime era nga baali bampadde ne Pulogulaamu eyayitibwanga Akezimbira, Pulogulaamu nagisigaza naye emirimu gy’obakitunzi ne ngitwala ku Dembe okuva olwo obulamu bwange bwonna ne bukyuka.
Ssimbwa ne Kalwanga bafuna ekilowoozo ky’okukoma okukozesebwa
Twegatta ne tutandikawo kkampuni etunda ebintu ebigaanye okutambula ku katale, era ne tukwata ku makkampuni mangi agaali galemereddwa okutambuza ebintu ku katale ke ggwanga, agasinga ne gadda engulu.
Nasalawo okuddayo mu ngoye era neegatta ku basuubuzi b’omuKikuubo ne ntandika okusuubula engoye okuva emitala wa Mayanja eno gye nafunira ekirowoozo ky’okwesogga eby’obufuzi, kubanga nage nayagala nzijeko ku lujjuliro nga omusuubuzi amanyi ebiluma basuubuzi banange.
Nga nkola egyange nakizuula nti abasubuzi mu Kampala banyigirizibwa nnyo kyokka nga tewali muntu ayinza kutuusa ddoboozi lyabwe eri abakulu ne baliwulira, nga abasinga bekomomma ebizibu ne bibanyiga nga tewali ayamba, olumu ne bafiirwa ne nsimbi mpitirivu.
Ssimbwa abe Nakifuma bamumanyidde ku mazzi
Bwogenda mu kitundu kye Nakifuma n’oyogera ku linnya Ssimbwa abasinga bakubuuza nti owa mazzi?? kino kijjawo olw’akawefube gwe ndiko mu kitundu kyange okusobola okufunira abantu baffe amazzi amayonjo.
Nakizuula nti amazzi kyali kizibu nnyo mu kitundu kino, naye kati omulimu we gutuuse bangi bajja kuganyulwa.
Singa mpebwa omukisa okukiikirira abantu baffe abe Nakifuma essira ngenda kuliteeka nnyo ku by’abusuubuzi kubanga abantu baffe bambi bafuba okukola kyokka tebafunamu olw’emisolo emingi egibabinikibwa.
Nja kufuba okulaba nga ebintu abantu bye balina okufuana okuva mu nkola za Gavumenti zonna zibatuukako okugeza nga emmwanyi, ente, obubizzi, ebitooke ne bilala.
Eddagala mu malwaliro kintu kikulu nnyo, Enguudo, Amazzi amayonjo nayeye nokusingira ddala okulwanirira abasuubuzi.
Ssimbwa musajja ewa kisinde kya People Power era bwaba ayogera ensonga ze tatera nnyo kwogera ku bibiina bya bufuzi ebiri mu ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com