• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Sisinkana omuyimbi Nsereko abanja emmotoka ne byuma ebikwata ennyimba Museveni bye yamuwa ne bibulankana

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
1 year ago
in Luganda, National, News
18 2
Sisinkana omuyimbi Nsereko abanja emmotoka ne byuma ebikwata ennyimba Museveni bye yamuwa ne bibulankana

Nsereko ne Museveni ku gumu ku mikolo gya NRM e Namboole gye buvuddeko

Share on FacebookShare on Twitter

OMUYIMBI Emmanuel Nsereko amanyiddwa enyo nga munnaMasaka era nga abangi bamumanyi nga omuyimbi wa Museveni bwanyumya byayiseemu omuli n’okummibwa ebintu Museveni bye yamusuubiza mu lwatu tolema kwewunya.

Nsereko yawayizaamu n’omusasi wa Watchdog Uganda eyamusanze mu kabuga ke Seeta mu Mukono era nga eno gyawangaalira.

“Ndi musajja omusomesa omutendeke kyokka nga nyumirwa nnyo okuyimba era nga ekitone kyo si kwewaana nkirina, natandika okuyimbira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu mwaka gwa 2010 wabula mu kiseera ekyo yali tammanyi nga omuntu wabula nasalawo okutwala obutambi bwange eri Hon. Ronald Kibuule abumutwalire era naye kye yakola.

Hill Water

Mu kusooka sasooka kutegeera nti omukulembeze we Ggwanga bye nayimba byamunyumira,  nalabiraawo nga atandise okutegeeza Kibuule antwalenga ku mikolo gye yagendanga era nansaba muyimbiremu n’abantube.

Emirundi mingi namusembereranga era nga twogera buli lwe namusisinkananga, mu zimu ku nsisinkano nafuna omukisa ne ntegeeza Pulezidenti nti ensimbi zampa mu bbaasa nga musanyusizza kituufu nzagala nnyo era zinnyamba naye nali neetaaga nange ampe eddobo ntandike okwelobera ekyennyanja mu nnyanja naye kye yakkiriza era kyamusanyusa nnyo.

[/media-credit] MUNNAMASAKA EMMANUEL NSEREKO

Wano mu mwaka gwa 2014 namusisnkana era ne mutegeeza nti nali netaaga okufunayo ebyuma ebikwata ennyimba nga bino byali byakunyambako nze saako n’abavubuka abayimbi abatalina sente zikwata nnyimba zaabwe ate nga ekitone kyokuyimba bakirina.

Era nagenda mu maaso ne musaba ne mmotoka nange mpone okutambuza ebigere saako n’okunyanguyanga okumutuukako bwe yabanga ampise ku mikolo okusanyusa abantu be.

Kino Pulezidenti kyamusanyusa era naayita eyali omuyambi we ow’okulusegere ekiseera ekyo Muky. Molly Kamukama naamutegeeza okukola ku nsonga zange mu bwangu.

Muky. Kamukama yandagira byonna byentegezezza omukulu, okubiteeka ku mpapula mu buwandiike nange kye nakola ekyaddirira yantegeeza nti abikwasizza omukulu avunanyizibwa ku bye nsimbi mu office y’omukulembeze we Ggwanga Muky. Lucy Nakyobe.

Mu mwaka gwa oguwedde nagezaako ne ntukiirira Muky. Nakyobe era nantegeeza nti nali wakufunira ensimbi mu mbalirira ye byensimbi eya 2017, okuva ku olwo ngezezaako okumutuukirira naye nga nsiwa nsaano ku mazzi.

Gye buvuddeko nafuna omukisa ne nsisinkana Pulezidenti bwe yali agenze e Mukono okuggulawo ekkolero lye mifaliso mu kkampuni emanyiddwanga Tian Tanga, bwe namuyimbira nampita nambuuza oba ebyange nabifuna, ne muddamu nti sibifunanga nangamba nti nkwatagane ne Mukyala Nakyobe.

Mubutuufu simanyi lwaki ebintu byange bigaanye okumpeebwa, kubanga ndaba abalala babawa ate nga ffenna tukolera Muzeeyi, sigamba nti oba banange abalala tebabawa naye njagala obwenkanya bubeewo mu ngaba ye bintu Muzeeyi byagabira abantu okubasiima.” Nsereko bwe yagambye.

[/media-credit] Nsereko nga abauuza ku Museveni ku mukolo ogumu gye buvuddeko

Yagambye nti agenda kufuba ekyetagisa okulaba nga abakulu mu offiisi ya Pulezidenti bamuwa ebintu byonna nga bwe yabisuubizibwa Omukulembeze kubanga alina eddembe lye okubanja byalina okufuna.

Kawefube wa WatchDog okwogerako n’akulira ebyensimbi mu offiisi y’omukulembeze we Ggwanga Mukyala Lucy Nakyobe agudde butaka olw’essimu ze obutakwatibwa.

Nsereko ye yayimba ennyimba okuli Bus mpulira etokota, Ttaata museveni wefugire, ne ndala nnyingi, ono ebiseera ebisinga Pulezidenti bwaba mu kitundu kya Buganda alabibwako nga ayimba ennyimba eziwaana n’okusuuta omukulembeze we ggwanga ku mikolo gyabeerako.

 

 

 

 



Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share4Tweet3Send
Previous Post

Proscovia Nabbanja 41, replaces Dr Josephine Wapakabulo at Uganda Oil Company

Next Post

Baby survives fatal YY Bus accident, mother among 5 dead

Next Post
Baby survives fatal YY Bus accident, mother among 5 dead

Baby survives fatal YY Bus accident, mother among 5 dead

Subscribe to Our Newsletter

Our news in your inbox. Subscribe to receive Watchdog Uganda news in your email at no cost.

Check your inbox or spam folder to confirm your subscription.

Facebook Twitter

Contact Information

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

© 2020 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda

© 2020 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Create New Account!

Fill the forms below to register

All fields are required. Log In

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In