OMUTEGESI we bivvulu era nga kati yafuuka munnakisinde kya People Power Andrew Mukasa amanyiddwanga Bajjo Events olwaleero kitegerekese nti ajja kugira alindako okuwulira okusaba kw’okweyimirirwa kwe yassa mu kkooti olwo Mulamuzi awulira omusango gwe Stella Amabillis okuba omulwadde.
Olwaleero Bajjo abadde aleteddwa mu kooti nga bwe yali yalagirwa kyokka kimubuseeko okutegezebwa nti omulamuzi abadde alina okuwulira okweyimirirwa kwe nga bwe yali yasaba gye buvuddeko taliiwo, era nga mulwadde teyewulira bulungi.
Wano ategezeddwa nti ajja kuddizibwa mu kkooti nga 11 omwezi guno, era ku olwo kkooti bwegenda okuwulira okusaba kwe, era naddizibwayo mu kkomera e Luzira.
Bajjo ono yakwatibwa abakuuma ddembe bwe yali mu kibangirizi kya Centenary Park mu Kampala bwe yali mu lukungaana lwa bannamawulire nga ayogera ku misinde mubuna byalo ezaali zimanyiddwanga The Power Marathon, Poliisi kye yagamba nti byonna byali bigendereddwamu kukuma mu bantu muliro, nga kwogasse ebimu ku bigambo bye yayogerera mu katambi akatambulira ku mitimbagano nti agenda kujjako Gavumenti nga okulonda kwa 2021 tekunatuuka.
Ono yaggulwako omusango gw’okukuma mu bantu omuliro wansi wa kawayiro 89(i) mu mateeka agafuga eggwanga lino.
Oludda oluwaabi lugamba nti Andrew Mukasa ono mu mwezi gw’omukaaga omwaka guno nga asinziira mu bitundu bye Ggwanga ebyenjawulo okuli Mbarara, Ibanda Kampala ne bilala yekwata akatambi akakuma mu bantu omuliro bakyawe Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era beetabe mu bikola eby’okumamulako Gavumenti ya NRM mu buyinza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com