EKITONGOLE kya Poliisi ye Ggwanga kigamba nti kituuse ku buwanguzi bwa maanyi oluvanyuma lwa Gavumenti okuteeka kkamera ku nguuudo nga omu ku kawefube w’okulwanyisa obumenyi bwa mateeka.
Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2017 Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni bwe yali agenze ku kyalo Kulambiro okukubagiza ab’enju y’omugezi Andrew Felix Kaweesi yalagira be kikwatako okussawo kkamera zi mulengera wala bunnambiro okusobola okukkakkanya ku bumenyi bwa mateeka obwali bugenda mu maaso nga kwotadde n’obutemu.
Kino kyasooka ne kiwakanyizibwa abamu ku bannaUganda nga bagamba nti kkamera zino zaali ziyinza obutaba na makulu nnyo era ne bateekawo ensonga ez’enjawulo.
Yadde nga bano bagenda mu maaso ne boogera byonna, kino tekyagaana Pulezidenti kugenda mu maaso n’antekateeka ye era kkamera ne zigulibwa abakugu ne batandika okuzisimba mu kibuga Kampala ne bitundu ebyetoloddewo.
Omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Fred Enanga agamba nti okuva kkamera zino bwe zaatandika okukola omwaka oguwedde, ekitongole kya Poliisi kilina obuwanguzi bungi bwe kituuseko mu kukwata saako nokunonyereza ku misango egyenjawulo, era nga kati bagenda kufulumya obutambi obwenjawulo obw’oleka abamenyi ba mateeka nga bakola ebikolwa ebikyamu, kyagamba nti bagenda kubulaga abantu babayambeko mu kukwata ab’etaba mu bikolwa ebikyamu bavunanibwe.
Yagambye nti mu zimu ku ntambi ezigenda okufulumizibwa mulimu ezilaga obubenje obwenjawulo mu kibuga saako n’obubbi obwakolebwa nga obubenje obwo buguddewo, abasazi be nsawo mu kibuga, saako n’obumenyi bwa amateeka obulala.
“Era tugenda kulaga butya kkamera zino engeri gye zituyambamu okukwata abazzi be misango, nabutya bwe tuzikozesa mu kunonyereza saako n’okuzuula abatuufu abetabye mu kuzza emisango” Enanga bwe yagambye.
Kino kidiridde akatambi akakwatibwa kkamera y’okukisenge ekimu mu kitundu kye Kakeeka Mengo nga abasajja 2 ab’efuula abatambuze ku Boda Boda, nga beefulira omugoba waayo ne bamukuba ennyondo ku mutwe ne bamutta.
Mu kiseera kino kkamera 5552 z’ezakatekebwa mu kitundu kye Kampala, Wakiso ne Mukono era nga waliwo entekateeka y’okuzongerayo mu bitundu bye Ggwanga ebilala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com