OMUMYUKA wa RDC mu Disitulikiti ye Buvuma Patrick Mubiru kyadaaki amazeewo enkayana n’obutakwatagana obubaddewo mu bakulembeze ba NRM, kyagambye nti kye kimu ku bibadde bileseewo ekitundu kino okudda emabega saako ne mirimu okuba nti gibadde tegitambula bulungi.
Okwogera bino abadde mu nsisinkano ebadde eyakafubo mu offiisi ye ku lw’okuna, n’abakulembeze 2 okuli omukwanaganya we mirimu mu offiisi ya Ssentebe we kibiina atwala Disitulikiti ye Buvuma Singoma Fred ne Ssentebe wa NRM owa Disitulikiti Charles Wandera ababadde bamaze akabanga nga tebakwatagana ekibadde kiviiriddeko obuwagizi bwe kibiina mu Buvuma okusereba.
Mubiru yagambye nti akirabye nga kyabuvunanyizibwa okusooka okutabaganya abakulembeze, kyagambye nti kati kigenda kwanguya entambuza ye mirimu ku bizinga saako n’okwongera okugatta bannakibiina abalala baddemu okuwagira omukulembeze wa NRM Gen. Yoweri Kaguta Museveni awatali kusika muguwa.
“Bwe najja wano nabagamba nti nze sigenda kukolera mu ntalo era kati njagala zonna nzimalewo tutambuze emirimu gya bantu, era offiisi yange nzigule buli muntu yenna ajje tukole emirimu saako n’okugonjoola ebizibu ebiluma abantu baffe.
Sagala yadde okuddamu okuwulira nga muzzemu okunenengana kubanga eno Disitulikiti yaffe nga NRM bwe tulemwa okukwatagana kitegeeza nti tuba tuwa abalabe baffe omwagaanya okutwogerako nti tetuyambye bantu” Mubiru bwe yagambye.
Yakinoganyizza nti okusinziira bwawulirizza ensonga za bakulu bombiriri akizudde nti tewabaddewo nnyo kyamaanyi okujjako bonna okumanya nti balina okukolera awamu okusobola okusitula ekibiina kye bawereza saako n’okuyambako mu ntambula ye mirimu.
Bbo Singoma ne Wandera beeyamye okukolera awamu n’ababaka ba Pulezidenti okulaba nga bannaBuvuma bayambibwa mu bizibu ebiyitirivu bye balimu omuli okubbibwako amattaka gaabwe, okutulugunyizibwa abalwanyisa envuba embi ne bilala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com