MUNNAMAGGYE Lt. Col. James Nuwagaba abadde akulira ebikwekweto ebilwanyisa nvuba embi ku nnyaja akwatiddwa ku nkoona nga entabwe evudde ku kutulugunya bavubi nga akola emirimu gye.
Nuwagaba ebintu okumwononekera kiddiridde omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni okutalaaga ebitundu bya Busoga era abakulembeze baayo bonna awatali kwesalamu ne bamulombojjera ebizibu ebibatuusiddwako abakola ebikwekweto ebilwanyisa envuba embi okwetoloola ennyanja.
Kinajjukirwa nti Minisita Persis Namuganza bwe yali mu bitundu bye Mayuge yalaga abantu abaatulugunyizibwa nga naabamu balemala abalala nga ebitundu ku mibiri gyabwe tebiliiko ekyennyamiza ennyo abaali mu lukungaana luno.
Museveni bwe yatuuse e Kamuli era sipiika Rebecca Kadaga naye naamulombojjera embeera yeemu, omuli okutta abantu ku nnyanja, okubakuba emiggo saako n’okutulugunyizibwa okulala, ekilowozebwa okuba nti kye kyatanudde omukulu naagoba Nuwagaba.
Ensonda zigamba nti eyamuwa omulimu era nga ye mukulembeze we Ggwanga asazeewo Nuwagaba awummule nga mu kiseera kino ekifo tekinakwasibwa muntu mulala.
Kitegerekese nti emisango mingi ku ma Poliisi ag’enjawulo mu Ggwanga egy’ekuusa ku kutulugunya abantu nga naabamu baafiira mu bikwekweto bino.
Ebidduka bingi omuli amammotoka saako ne pikipiki bingi bikyali ku ma Poliisi ebimu bitandise n’okuvunda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com