AB’EBYOKWERINDA omuli amaggye ne Poliisi baakutte abantu 262 mu kiro ekyakesezza olw’okubiri ku byekuusa ku kwekalakaasa okwaliwo wiiki ewedde nga abantu balaga obutali bumativu ku by’okukwata omukulembeze we kibiina kya NUP Hon. Robert Kyagulanyi Sentamu mu bitundu bye Luuka.
Okwekalakaasa kuno kwabuna e Ggwanga lyonna era ab’ebyokwerinda ne bajjayo emmundu n’omukka ogubalagala okusobola okukkakanya ab’ekalakaasi, ekyaviirako n’abamu okufiira mu kasambattuka kano.
Mu kusooka omwogezi wa Poliisi ye Ggwanga Fred Enanga yategeeza nti abantu 577 be baakwatibwa mu nnaku 2 ez’asooka, era omuwendo ne gweyongera okutuuka ku 633.
Kitegerekese nti buli Poliisi okwetoolola Kampala abantu balabiddwako nga bangi, nga kiteberezebwa okuba nti bano bazze kulaba nga bajjayo abantu baabwe.
Pliisi egamba nti zi kkamera enkessi ez’atekebwa mu bitundu eby’enjawulo ze zibayambye okumanya abantu abakulembera okwokya emipiira mu nguudo, okuteega abantu ne babanyagulula nga kwotadde n’okukuba abakuuma ddembe.
Enanga agamba nti bagenda kukola ekyetaagisa kyonna okulaba nga bakwata abo bonna ab’etaba mu kasambattuko kano, nti era ttiimu zaabwe ez’abambega omulimu bagukola kinnawadda.
“Benson Kasozi omuvubuka eyakuba akulira Poliisi ye Nakivubo ennyondo Consulate Kasule naye yakwatiddwa” Enanga bwagambye mu lukungaana lwa bannamawulire ku Media Centre.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com