OMUKULEMBEZE we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni era nga ye Ssentebe we kibiina kya NRM ekiri mu buyinza enkya ya leero akakasiddwa nga yagenda okukwatira ekibiina kya NRM ebendera mu kulonda okubinda binda.
Museveni atuuse ku kitebe kye kibiina e Kyadondo ku ssawa 4 era nga abadde awerekeddwako mukyalawe Janet Kataaha Museveni, omuwandiisi we owekyama Dr. Keneth Omona nabalala bangi.
Oluvanyuma yesozze ekifo we bawandiikira abagenda okuvuganya, era akulira eby’okulonda Dr. Tanga Odoi namwaniriza saako n’okumukakasa nga ye yekka ayiseemu watali kuvuganyizibwa okusooka ku kifo ky’obwaSsentebe we Kibiina kya NRM saako n’okukwata ebendera ye kibiina mu kulonda okujja.
Oluvanyuma Museveni ayogeddeko eri bannamawulire ne yebaza bannaNRM okumutekamu obwesige ne bamulonda okubakwatira ebendera mu kulonda saako n’okumuzza ku kifo ky’obwaSsentebe bwe kibiina kyabwe.
“Kati bino biwedde ekiddako kwe kwanjula entekateeka ya kkampeyini zaffe saako ne manifesito gye tugenda okugoberera nga tuwangudde akalulu'” Museveni bwagambye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com