OMUBAKA wa Kyadondo East mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Robert Kyagulanyi Sentamu Bobi Wine, kawefube w’okutwala entebe y’obukulembeze bwe Ggwanga Uganda amwongeddemu ebisoko bwatongozza kkaadi bannakibiina kye ekipya ekya Nation Unity Platform NUP ze bagenda okufuna okufuuka ba memba abajjuvu.
Okusinziira ku mwogezi wa NUP Joel Senyonyi agamba nti kkaadi zino zijja kugulwa ensimbi za Uganda 1000 lwokka.
Kyagulanyi agambye nti ono kawefube agendereddwamu okwenyweza munda mu kibiina nti kubanga gye buvuddeko abamu ku bannabyabufuzi babadde bavumirira ekisinde kya People Power nti tebategerekeka, kyagamba nti kati nabo batandise okukkiriza nti balina we batuuse mu kwenyweza okusobola okutwala obukulembeze bwe Ggwanga ne bifo by’obukulembeze ebilala.
“Luli tubadde tujeregwa nga nabamu bagamba nti tulinga abali mu katemba tetulina nnamba kwe tugenda kutuulira bigezo, naye kati buli kimu kituli mu mitambo era ennamba kwe tulina okutuulira ebigezo twagifunye dda” kYagulanyi bwagambye bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kyabwe e Kamwokya.
Ayongeddeko nti NUP kigenda kuba nga muganda wa People Power nga kino tekitegeeza nti olw’okuba bawandiisa ekibiina kati basazeewo kusuula People Power ku bbali.
Dr. Lina Zedriga, nga ono ye mumyuka w’omukulembeze wa People Power mu Ggwanga agambye nti NUP mu bbanga ttono egenda kulangirira obukulembeze bwayo, olwo bayingire olw’okaano nga beeteseteese bulungi.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com