OMUKULEMBEZE we kisinde kya People Power Robert Kyagulanyi Ssentamu akyusizza mu nkuba ye by’obufuzi, bwatongozza ekibiina mwagenda okuyita okwesimbawo ku bukulembeze bwe Ggwanga Uganda.
Ennalku zino Kyagulanyi tatudde ayiiya buli olukya okusobola okuwangula okulonda kw’obukulembeze bwe Ggwanga okutegekebwa mu mwaka gwa 2021.
Leero atongozza ekibiina kye by’obufuzi ekimanyiddwanga NATIONAL UNITY PLATFORM nga muno mwagenda okuyitira okwesimbawo nga kwotadde ne kisinde kya People Power.
Ebiina kino kibaddewo mu Uganda era nga kikola emirimu gyakyo, Omukulembeze waakyo Nkonge Kibalama agambye nti batuuka ku kukaanya mu lukungaana lwe baalimu n’abakulembeze be kisinde kya People Power nga 14 omwezi gw’omusanvu omwaka guno.
Nkonge agamba nti ekibiina kino baakibangawo mu mwaka gwa 2004, era ne batuukiriza ebisanyizo byonna ebyali byetaagisa, nayongerako nti babadde bakola buli ekyetaagisa okuyimirizaawo ekibiina kyabwe buli mwaka oguyitawo.
Agambye nti enkolagana yabwe ne kisinde kya People Power evudde wala okuva Kyagulanyi bwe yawangula okulonda kw’obubaka bwa Palimenti e Kyadondo East mu 2017.
“Tubadde tugoberera Kyagulanyi ne nkola ze nga omuntu, naddala ebigambo ebyamagezi byabadde ategeeza bannaUganda naddala ebikwata ku mbeera eyabulijjo gye bayitamu, kye kimu ku byasinga okutusikiriza okumwegattako” Nkonge bwagammbye mu kutongoza enkolagana yaabwe.
Omwogezi we Kisinde kya People Power Joel Senyonyi abikkudde ekyama nagamba nti abantu baabwe bonna abagenda okwesimbawo balina okukozesa ekabonero ke kibiina kino wakati mu kwesimbawo mu kulonda okujja.
Ku mbeera ye bibiina ebilala ebibadde byagala okukolagana ne People Power okugeza nga JEEMA ne ANT Senyonyi agambye nti tewali buzibu bagenda kussawo enkolagana eyannamaddala okulaba nga bafuna ebifo mu kulonda okubindabinda.
Anyonyodde nti kino tekikoleddwa kwekutula ku bibiina bilala wabula baagadde batekewo enkola egendereddwamu okuyamba abantu baabwe abaatwala ebiwandiiko byokwesimbawo ku kaadi ya People Power nabo okufuna akabonero ke banakozesa, nagamba nti bajja kwaniriza ne bibiina ebilala mu nkolagana eno.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com