NGA e Ggwanga ly’ongera okunyigirizibwa ekirwadde kya COVID 19 ekyazingako ensi yonna, BannaUganda balaze okutya olwe miwendo gy’ebyentambula egyagerekeddwa abagoba ba Takisi mu Kampala ne Miriraano.
Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni olunaku lwa Mmande ekiro yagambye nti entambula eza lukale zonna zijja kuddamu okukola nga 4 omwezi guno nga zitwala ekitundu ku bantu be zibadde zitwala.
Kino kyasanyusizza ku bantu abakozesa entabula za Takisi ne Kosita, kyokka essanyu teruyagenze wala oluvanyuma lw’okulaba nga abagoba bafulumizza olukalala lwe nsimbi ezigenda okusasulwa buli lugendo okwetoloola Kampala ne miriraano.
Okusinziira ku bakulu mu bibiina ebitwala takisi emiwendo bagigerese bwe bati buli siteegi.
Kla-Bweyogerere, Kireka 4000
Kla-Mukono, Seeta 6000
Kla-Naalya, Kyaliwajjala 3000
Kla-Namugongo,Kira 4000
Kla-Kasangati, Gayaza 4000
Kla-kyebando, kikaya 3000
Kla-Nsangi, Maya 5000
Kla-Nakirebe, Mpigi 6000
Kla-Namuwongo, kisugu 3000
Kla-Makindye, Bunga, Nanganda 3000
Kla, Nsambya, Kabalagala 2000
Kla-Kalerwe,kanyanya, Mpererwe 3000
Kla-Matuga 4000
Kla-Ntinda 2000
Kla-Biina,Kitintale, Mutungo Luzira 3000
Kla-Muyenga, Bukasa 4000
Kla-Gaba, Kansanga, Munyonyo 4000
Kla-Mbuya, Bugolobi 2000
Kla-Kasubi, Masanafu, Namungoona 3000
Kla-Braise, Kawempe 3000
Kla-Rubaga, Wakaliga, Nateete 3000
Kla-Kiwatule, Najjera 3000
Kla-kisasi, Kyanja 3000
Kla-Salaama, Munyonyo 4000
Kla-Entebbe, Nkumba 8000
Kla-Lubowa, Kajjansi 4000
Kla-Najjanankumbi, Namasuba 3000
Kla-Nyanama, Kabowa, Mutundwe, Bunamwaya 3500
Kla-Busega 4000
Kla-Bulenga 5000
Kla-Nansana, Wakiso 4000
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com