ABAKOZI mu makkampuni ga baChina agasangibwa ku kyalo Mbalala mu Disitulikiti ye Mukono balajanidde Minisita wa mazzi Ronald Kibuule abasabire emmere okuva ew’omukulembeze we Ggwanga emmere kubanga basobole okuwona enjala gye bagamba nti ebali bubi oluvanyuma lw’okuwummula okukola.
Bano bagamba nti okuva lwe bayimirizibwa okukola nga ekilwadde kya Covid 19 kizinze e Ggwanga ebintu byabatabukako era kati basiiba waka tebalina yadde eky’okulya na baana baabwe.
Bagamba nti bandibadde badda ewaabwe mu byalo naye tebasobola olwe ntambula okuba nti nayo omukulembeze we Ggwanga yagiyimiriza, ate ne bakama baabwe bwe babakubira ku ssimu okubategeeza ebizibu bye njala bye balimu tebabawuliriza.
“Banange twolekedde okufa enjala n’abaana baffe ssinga abakulu tebavaayo kutuyamba, era tusaba Minisita Kibuule atugambire ku mukulembeze we Ggwanga kubanga mukwano gwe atufunire ku kyokulya naye tufa enjala” Bwe baagambye.
Mukwanukula Minisita Kibuule bwe yabadde ku Radio emu e Mukono yagambye nti ekyamazima yafunye okwemulugunya kwa bakozi bano era nagamba nti ali mu kawefube okutegeeza omukulembeze ensonga eno kubanga elabika nga yabwerinde nnyo.
Yanyonyodde nti ddala nti yadde nga offiisi ya Ssabaminisita tennaba kutuusa kugaba mmere mu kitundu kye Mukono naye agenda kusala amagezi alabe nga bafunirwa emmere amangu ddala.
Bano ssi beebokka abalajana enjala e Mukono wabula nabatuuze mu kibuga kye mukono naddala abo abaali bakola emmere ya leero omuli abakyala abaali bakolera ku nguudo, aba Boda boda n’abagoba ba Takisi nga mu kiseera kino tebamanyi kyakukola olwe njala okuba nti ebali bubi n’abomumaka gaabwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com