• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Abatuuze abagambibwa okutulugunyizibwa ekitongole kya NFA e Buvuma bagenze mu Kkooti

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
1 year ago
in Luganda, National, News
6 0
Abatuuze abagambibwa okutulugunyizibwa ekitongole kya NFA e Buvuma bagenze mu Kkooti

Omubaka Nantume Wakati n'abamu ku batuuze be Buwooya abaatulugunyizibwa aba NFA

Share on FacebookShare on Twitter

ABATUUZE abasoba mu 300 okuva mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Buwooya mu disitulikiti y’e Buvuma batutte ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibira ekya National Forestry Authority mu kkooti nga bakivunaana okukozesa eggye lya UPDF okubatulugunya nga babagoba mu bibanja byabwe.

Bano nga bayita mu munnamateeka waabwe, Emmanuel Onyango beekubidde enduulu mu kkooti enkulu e Mukono .

Kkooti yasoose kutuuza njuyi zombi bateese balabe oba batuuka ku kukkaanya. Olutuula luno lwakubiriziddwa omutabaganya wa kkooti enkulu e Mukono, Amaziah Martin Otim.

Onyango yategeezezza kkooti nti aba NFA nga bali wamu n’aba UPDF baasooka kwokya mayumba g’abatuuze ne boonoona emmere yaabwe n’okubakuba emiggo.

Hill Water
Twayogeddeko n’abamu ku batuuze ne batunnyonnyola obulumi bwe bayitamu ng’abamu tebakyalina we basula ssaako n’abaana obutaba na kyakulya.

Mu bakyasinze okutulunyizibwa kuliko; Gertrude Kasanga yagambye nti wiiki bbiri eziyise yakubibwa n’afuna ebisago.

Ibrahim Mugooda agamba nti akyalojja emiggo egyamukubwa ne gituuka n’okukyusa amagumba g’omugongo gwe.

Abatuuze bagamba nti bazzenga beekubira enduulu mu bakulembeze ku disitulikiti ne ku poliisi naye bonna tebasobodde kubayamba.

Bayongeddeko nti bwe bamala okubakuba, babaggalira mu kkomera era okubata basooka kubasasuza ssente ezitakka wansi wa mitwalo 150’000 buli muntu.

Abatuuze baasabye Pulezidenti Museveni abataase ku mbeera gye baayitamu.  Wabula ye munnamateeeka wa NFA yagambye nti abatuuze baayogera nabo ne babategeeza ng’ekitundu kye balimu bwe kiri eky’ekibira era ne babalagira baveeyo kyokka ate yeewuunyizza okulaba nga baddukidde mu kkooti okubawawaabira.

Omubaka Omukyala owe Buvuma Jenifer Nantume nga naye yawerekedde ku bantu baakiikirira  yagambye agenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga ataasa abantu b’omu kitundu ky’akiikirira.

Omulamuzi yayongezzaayo ensonga eno okutuusa nga October 17, 2019.



Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share1Tweet1Send
Previous Post

OPINION: How opposition promotes the myth of Museveni demigodism 

Next Post

How to be a Ugandan socialite in 7 steps

Next Post
How to be a Ugandan socialite in 7 steps

How to be a Ugandan socialite in 7 steps

Subscribe to Our Newsletter

Our news in your inbox. Subscribe to receive Watchdog Uganda news in your email at no cost.

Check your inbox or spam folder to confirm your subscription.

Facebook Twitter

Contact Information

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

© 2020 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda

© 2020 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Create New Account!

Fill the forms below to register

All fields are required. Log In

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In