Omulamuzi Flavia Anglin Senoga yagenda okuguba mu mitambo, nga muno abantu 8 abateberezebwa okuba nti baliko kye bamanyi ku nfa y’omusuubuzi Betty Donah Katushabe eyakubwa naafa mu mwaka gwa 2015.
Omusango guno gwali gwa kusalwa nga 30 omwezi gw’okutaano kyokka omulamuzi nasalawo okugwongerayo olw’emisango egyali emingi mu kooti ye, bwatyo naatekawo olw’aleero.
Oludda oluwaabi lwalaga nti Sebuufu ne banne nga 21.10. 2015 mu kifo kya Pine ekisangibwa ku luguudo lwa Lumumba we bakolera ogw’okutunda emmotoka, baakuba era ne batta Katushabe era ne babba ne nsimbi okuva ku ssimu ye emitwalo 300’000.
Sebuufu ne banne baakwatibwa era ne ne baggulwako emisango okuli ogw’obubbi, okuwamba omuntu n’okumutemula, kyokka ne bateebwa ku kakalu ka kkooti.
Abalala abavunanibwa ne Sebuufu kuliko Godfrey Kayizzi, Phillip Mirambe, Stephen Lwanga, Yoweri Kitayimbwa, Damaseni Ssentongo, Paul Tasingika ne Shaban Oduttu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com