• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Enguudo e Mukono ziri mu mbeera mbi, Enkuba y’etulemesa Ssentebe Ssenyonga

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
2 years ago
in Luganda, National, News
6 0
Enguudo e Mukono ziri mu mbeera mbi, Enkuba y’etulemesa Ssentebe Ssenyonga

Olumu ku nguudo eziri obubi e Mukono

ShareTweetSendShare

ENGUUDO mu Disitulikiti ye Mukono ziri mu mbeera mbi ng’entabwe yonna  eva ku migga egyawaguzza amazzi ne ganjaala mu kkubo gye buvuddeko ekileseewo okukalubirirwa eri abatambuze n’abaana abagenda ku masomero.

Amagombolola agasinga okubeera mu mbeera embi mulimu Nakisunga, Kimmenyedde, Ntunda, Nama, Naggojje, Kyampisi, Mpatta, Mpunge, Seeta-Namuganga, Kkoome ne Nakifuma tawuni kkanso.

Mu ggombolola y’e Nakisunga, abaana abakozesa oluguudo oluva e Kayanja okudda e Seeta-Nazigo nga bagenda ku masomero kati batambula olugendo luwanvu. Sylvia Buyinza ow’e Seeta- Nazigo yagambye nti embeera eno esinze kukosa abayizi abasomera ku Kungu-Bahai ng’omugga gwa Ssezibwa gwawaguza amazzi ne ganjaala mu kkubo ng’abayizi babadde tebasobola kugayitamu.

“Ng’abazadde, twakiraba nga kyabulabe okusindika abaana ku ssomero ng’omugga guyinza okubatwala. Naye kati ng’amazzi bwe gagenze gakendeera, batandise okusoma, kyokka ekizibu enkuba ekyatonnya”, bwe yagambye Bukedde bwe yatuuse mu kifo kino yasanze abayizi ba Kungu-Bahai nga basala mazzi okudda eka naye ng’embeera nzibu n’abamu bakira okusaza bannaabwe amazzi babaweeka ku migongo.

Fatuma Namukose, omu ku bayizi yagambye nti buli nkuba lw’etonnya amazzi ne ganjaala mu luguudo bazadde baabwe nga babagaana okusoma. Namukose yagambye nti wadde ng’amazzi gakendedde, naye okusala omugga balina kusooka kuggyamu ngatto nga n’abamu basomera mu bigere ne nniigiina oba lugabire eziteetaagisa kusooka kuggyamu.

Sentomeri Isaac, omusuubuzi yagambye nti olw’embeera embi mu kiseera kino, bawalirizibwa n’okusula ku mirimu mu kibuga ng’enkuba etonnye olw’okutya amazzi agabeera amangi nga gazibye oluguudo.

Yagambye nti n’ebirime bivundira mu nnimiro kubanga abavuzi ba bodaboda abandibadde babitwala mu katale bagaana nga batya okugwa mu mugga. Yagambye nti mu kiseera kino, bodaboda okuva e Nakisunga okugenda e Seeta-Nazigo ebaggyako 8,000/- nga zibadde 2,000.

Ssentebe wa Disitulikiti ye Mukono Andrew Ssenyonga agamba nti obuzibu bwonna buva ku nkuba etonnya ennaku zino, nga kino kibaberedde kizibu okulima enguudo zino kubanga bwe balima mu biseera bye nkuba ate enguudo zongera kufa.

Yagambye nti bagenda kukola ekisoboka kyonna okulaba nga batindira emigga gino okusobozesa abayizi ababdde batasobola kutuuka ku massomero okugiyitako.


For marriage, family, love, job/promotion. Goodluck in your business/lottery, court cases, diseases and other Spells kindly call Kiwanga Doctors on +254 769404965 or CLICK HERE

Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share1Tweet1SendShare
Previous Post

OP-ED: The Barking Dogs in NGOs should bow their Heads in Shame

Next Post

Ebola:10 guidelines to Uganda, DRC on how to contain outbreak

Next Post
A health worker feeds a boy suspected of having the Ebola virus at treatment center in Beni, Eastern Congo on Sept. 9, 2018. The Ministry of Health says there are no new cases of Ebola in the country.

Ebola:10 guidelines to Uganda, DRC on how to contain outbreak

Subscribe to Our Newsletter

Our news in your inbox. Subscribe to receive Watchdog Uganda news in your email at no cost.

Check your inbox or spam folder to confirm your subscription.

Facebook Twitter

Contact Information

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

© 2020 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • People
    • Entrepreneurs
    • Stars
    • Politicians
  • Special Report
    • Education
  • Travel
  • Video
  • Luganda

© 2020 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Create New Account!

Fill the forms below to register

All fields are required. Log In

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In