ABANTU 4 bakakasiddwa okuba nti bafiiridde mu kubumbulukuka kwe ttaka okuzzeemu e Bududa nga kwotadde n’amayuma agawerako okuba nga garekeddwa ku ttaka, mu nkuba efudembye mu kiro ekikeesezza olw’okusatu.
Bino byonna byabaddewo ku ssawa nga 5 ez’ekiro era nga ebyalo ebyasinze okukosebwa mwabaddemu sishakali ekisangibwa mu gombolola ye Buwali era nga eno abaana 2 ettaka lyababuutikidde ne bafiirawo, nga omu kubo abadde muyizi mu ssomero lya Bundesi Primary School.
Paulo Wanyera omu ku baawonye ekibambulira kino agamba nti enkuba eyatonnye yabaddemu omuyaga mungi era babadde beebase ne bawulira nga ettaka libumbulukuka okuziika enju zaabwe.
“Twabadde twebase nagenze okuwulira nga ettaka liyira era mu dakiika ntono nnyo, ettaka lyabuutikidde enju omulundi gumu era wakati mu kudduka muliraanwa waffe natutegeeza nti omwana we yafiiridde mu nju ne kitwenyamiza nnyo” Wanyera bwe yategezezza.
Ate mu muluka gwe Bunamwamba eno abantu 2 naye baafiiridde mu mayumba gaabwe nga gano amazzi agabadde ku misinde egyamaanyi gagasanyizaawo ku kyalo Suume.
Abatuuze bategezezza nti ekyamazima tebanategeera muwendo mutuufu ogwabantu abafiiridde mu njega eno, naye nga babadde bakyalwana bwezizingirire okusobola okulaba nga bataasa abakyali mu mayumba agagudde, naye nga abantu abawerako babadde bakyabuze.
Patrick Kibeti atwala eby’amawulire mu Disitulikiti ye Buduuda agambye nti abantu bangi bakyanoonyezebwa naye nga bakakasizza nti 4 bafudde yadde nga abawonye bangi naye nga amayumba gaabwe gonna gaweddewo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at Submit an Article