Omusasi Kiyimba Bruno
Kiyimba.bruno@gmail.com
Nga omuganda bwagamba nti ekijja omanyi kinyaga bitono, ne William Blick oluwangudde obukulembeze bwa Uganda Olympics Committee [U.O.C] nalabula banne nti Natioal Council of Sports [N.C.S] si bwebuzibu naye abagikolamu bebalina obuzibu.
Bino biddiridde N.C.S okuvayo neyimiriza okulonda kwa U.O.C nga egamba nti mukulonda kuno mukyalimu amavuunya ageetaga okutereeza.
Zubairi Galiwango nga ono yemukungu wa N.C.S yalabikira ku terefayina nemikutu egyenjawulo nga alaga nga N.C.S bwetakiriziganya na kulonda kuno okuleka nga bamaze okwetereeza.
Mukulonda kuno okwabadde kukitebe kya U.O.C e Lugogo,Blick yasobodde okumegga omukungu Wekibiina ekulembera omupiira mu gwanga ekya F.U.F.A nenkoona nenywa bweyayodde obululu bwonna obutalekerayo munne yadde.
Ekyewunyisa mukulonda kuno nti buli mukungu wa F.u.f.a eyesimbawo ukulonda kuno teyasobola kufunayo wadde akalulu nakamu bwekati.
Mubano mulimu Dennis Mbidde [ono nga yesimbawo bu bwa pulesidenti],Dr Bernard Partick Ogwel [ono yali ayagala kifo kya mukungu wakakiiko], Hilary Kimbugwe [ono difiri wamupiira eyawumula era yal ayagala kya sabawandiisi]
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com