ABATUUZE n’abamu ku bakulembeze mu Kibuga kye Mukono banyikaavu olw’embera ye nguudo embi mu kitundu kino
Enguudo okwetoloola ekibuga kyonna tezikyayitikamu era nga nendala zasalwako amazzi tezikyasobola kuyisa batuuze okusobola okugenda ku byalo gye basula nga kati abasinga baba balina kwetoloola nnyo okutuuka mu maka gaabwe.
Abamu ku bakulembeze bagamba nti kano kandiba akagenderere abakozi ba Gavumenti okubasuula mu kulonda okujja nti kubanga bulijjo babadde beekubira enduulu gye bali nga teri anyega.
KKansala Justus Munyigwa omu ku bakiise ku Munisipaari agamba nti nga abakulembeze ensonga ze nguudo zaabatabula dda, nti kubanga baakizuula nga ttulakita zonna nfu, era ne basalawo okuyisa ensimbi obukadde 80 baddabirizeeko wakiri emu elima, nti kyokka ekyabewunyisa ate kwe kulaba nga abakulu bekikwatako babategeeza nti ensimbi zino tezaamala wabula nga ate baagala bayise obukadde obulala 50 era zitekebwe ku kuddabiriza ttulakita yeemu.
Kino ategezezza nti kyatabula ba kkansala bonna era ne basalawo okugira nga beesonyiwa eby’okuddabiriza ekyuma ekilima enguudo, kubanga abakulira abakozi baalemwa okulaga ensasaanya ye nsimbi ezaasooka okuyisibwa.
Omumyuka wa Meeya William Makumbi bwatuukiriddwa ku nsonga eno agambye nti kituufu ebyuma ebikola enguudo ebisinga byayononeka, nategeeza nti byetaagisa ensimbi mpitirivu okubiddabiriza ze batalina kati.
“Ennaku zino enguudo ezetaagisa ttulakita twazivaako, nga kati amakanda tugasimbye ku buguudo obutono bwe tuyita obwa bulungi bwa Nsi obukolebwa ne mikono nga bwe tulinda ekiddako” Makumbi bwe yategezezza.
Yagambye nti balina esuubi mu mwezi gw’okutaano okufuna ttulakita okuva mu Gavumenti ey’awakati gye baateeka okusaba kwabwe gye buvuddeko.
Nga ojjeeko ebyuma ebilima enguudo ne bimotoka ebikungaanya kasasiro byonna ebisinga byakwamira ku kitebe kya Munisipaari ye mukono nga kati obuwundo buzaalira omwo.
Bbo abatuuze bagamba nti okusinziira obukulembeze bwa Meeya Erisa Mukasa Nkoyoyo gye bubayisizzaamu nabo babwetegekedde mu kulonda okuddako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com