Abasuubuzi mu Kampala balaze okutya olw’omuggalo saako ne biragiro ebyatereddwawo omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni ebikwata ku kutangira ekirwadde kya Covid 19, ne bagamba nti buli kimu kibadde tekinaterera.
Okuva omuggalo ogwaliwo mu mwezi gw’okusatu omwaka oguwedde okutuusa kumpi mu mwezi gw’omwenda 2020, abantu baagenda okuddamu okukola nga buli kimu kyononese.
Emirimu gye baali bakola naddala obusuubuzi gyali gyayimirira era nga abamu ku basuubuzi amadduuka baagaggala olw’ensimbi z’obupangisa ezaali ziyitiridde obungi ate nga tebafuna kuddirwamu bannanyini mayumba agapangisibwa.
Kino kiraga nti abamu ku baali basigadde nga bakyawadawadako mu busuubuzi nabo babadde teabanaterera bulungi, nga abaali bagenda okusuubula emirundi 2 emitala wa mayanja kati n’ogumu kuba kusaba nnyo.
“Tetugaana kuggalwa kubanga kiyamba bulamu bwaffe, naye omukulembeze yandilowozezza ku ky’okuyita bannanyini bizimbe nabasaba batukendereze ku nsimbi z’obupangisa oba n’okutusonyiwamu kko emyezi gye tugenda okumala nga tetukola.
Bangi tuli mu ma banka tukyasasula nsimbi ze twewola ku muggalo ogw’asooka, nakati zikyatulemye okuzaayo okumalayo ate nga namagoba baatutekako mangi nnyo wabula tetumanyi kye tuzaako” Abasuubuzi bwe baategezezza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com