OMUYIGGO okukwata abakungu be Kibiina kya National Resistance Movementi NRM abeekomya ensimbi z’abakuumi ba kalulu ka Pulezidenti Museveni kwongedde okusattizza banaabwe bwe baali bakola omulimu guno.
Kino kidiridde wiiki ewedde Pulezidenti yenyini okulagira okunoonyereza ku bigambibwa nti waaliwo ensimbi ezabulankanyizibwa abakungu naddala mu wooffiisi ye e Kyambogo, ekyaleetawo abamu ku baakola ku mulimu gw’okukuuma akalulu ke mu bifo awalonderwa okutandika okwemulugunya nti tebasasulwa nabalala nti omutemwa ogwali ogw’okubawebwa tegwawera.
Kinajjukirwa nti kyatekebwatekebwa nti buli muntu eyali ow’okukuuma bokisi y’omukulembeze we Ggwanga yali wakufuna ensimbi 100,000 kyokka nga abamu tebazifunako yadde abalala baafuna 50,000.
Kino kyasinga kweyolekera mu kitundu kya Busoga era eyali omukwanaganya we mirimu mu Offisi ya Pulezidenti e Kyambogo atwala ettundutundu lya Busoga George Kintu naakwatibwa nga kigambibwa nti ono yali abulankanyizza ensimbi ezisoba mu bukadde 60, oluvanyuma nateebwa ku kakalu ka Poliisi.
Omuyiggo gweyongerayo okusobola okuzuula abalala era era omu ku bakungu mu Offiisi eno Norah Bamutaze naye yakwatiddwa nga kigambibwa okuba nga naye yabulankanya ezisoba mu bukadde 50, era nga kati akuumibwa ku Poliisi ye Nalufeenya mu Jinja.
Akulira emirimu mu Offiisi ya Pulezidenti e Kyambogo Faruk Kirunda yategezezza nti bakola ekisoboka okulaba bazuula abantu abatasasulwa mu kulonda okuwedde kyokka nga baakola omulimu gwabwe.
“Ensimbi zonna ezabulankanyizibwa tugenda kufuba okulaba nga tuzijja ku abo abazitwala mu lukujjukujju era ziwebwe be zaalina okuwebwa kubanga kubanga tukizudde nti baakola naye tebasasulwa” Kurunda bwe yagambye.
Yanyonyodde nti bataddewo ttiimu endala ekole okunonyereza okwetoloola e Ggwanga lyonna okusobola okuzuula abo bonna abeetaba mu kubulankanya ensimbi ezaali ez’okuwebwa abantu abaalina okukuuma akalulu k’omukulembeze we Ggwanga.
“Mu bitundu ebisinga omulimu gwatambula bulungi era teri kwemulugunya kwonna” Kirunda bwe yayongeddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com