OMUVUZI we motooka ze mpaka Ponsiano Lwakataka akukulumidde ekitongole ekiwaabi kye misango gya Gavumenti, nga agamba nti muno mulimu abakozi abasusse okumutulugunya mu musango gwe yawawabirwa mu kooti e Mukono.
Gyebuvuddeko Lwakataka yawawabirwa Georgewilliam Kawooya omusango gw’okusalimbira ku ttaka mu bumenyi bwa mateeka ku kyalo Kiwanga ekisangibwa mu Division ye Goma e Mukono, era naakwatibwa naggalirwa mu kkomera e Kauga okumala wiiki 2.
Agamba nti kino kyakolebwa nga takkiriziddwa kuwulirizibwa omuwaabi we misango gya Gavumenti eyali mu mitambo gy’omusango guno Johnathan Muwaganya.
Lwakataka agamba nti Muwaganya ono asusse okumunyigiriza nga buli kadde aba amwewerera okumuggalira, era nga ne mirundi mingi alabibwako n’abantu abamuwawabira kyagamba nti kino si kyabwenkanya.
“Mpadiise amabaluwa mangi eri abakulu mu offiisi ya DPP nga neemulugunya kyokka teri muntu avuddeyo kunyamba ku mukozi waabwe, ate nga ekyamazima obujulizi obulaga nti alina kyekubiira mu musango guno bwonna mbadde nfubye okububawa.
Kyenjagala ye offiisi ya DPP okunyamba banyusize bampe omuwaabi omulala kubanga kikkirizibwa mu ssemateeka afuga e Ggwanga Uganda singa mba nga sili mumativu n’omuntu oyo ampozesa” Lwakataka bwe yategezezza bwe yabadde asisinkanye bannamawulire mu Kampala.
Lwakataka yakwatibwa ku ntandikwa y’omwaka guno nga kigambibwa nti yamenya amayumba g’abatuuze Joseline Namanya, Antony Lugonvu ne George William Kawooya, kyagamba nti takikolangako.
Ettaka lye bakaayanira lyali lya mugenzi Antonio Kiggundu nga lyali liweza yiika bbiri kyokka oluvannyuma lw’okufa, nnamwandu Gorreti Nanonzi ne bamulekwa baasalawo okulitunda nga yiika emu baagiguza Goerge William Kawooya n’endala Masusera Mukasa, Lwakataka baagamba nti tebaalina buyinza butunda era baatundira mu bumenyi bwa mateeka.
Kigambibwa nti ettaka lino lyali lya kitaawe wa Lwakataka omuto omugenzi Kiggundu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com