OKUWANDIISA Gen. Henry Tumukudde okuvuganya ku bwa Pulezidenti bwa Uganda kuzzeemu omukoosi, oluvanyuma lwabakulira okuwandiisa okumutegeeza nti agira addako ebbali amale okutereza ebitatuukiridde mu biwandiiko bye.
Kitegerekese nti Tumukunde engeri gyatalina kibiina anbadde alina okugenda ew’omulamuzi oba Puliida akakasa ebiwandiiko asooke amuteere omukono ku mpapulaze okulaga obukakafu bwazo.
Omulamuzi Simon Byabakama yamutegezezza bino era namulagira agira addako ebbali katono amalirize ensonga eno oluvanyuma awandiikibwe.
Mu kiseera kino Tumukunde atuyana zikala e Kyambogo we bawandiikira nga bwalinda okumaliriza ensonga eno balabe ekiddako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com