EFFUJJO ly’eyolekedde ku kyalo Kasambira ekisangibwa mu gombolola ye Bugulumbya e Kamuli abawagizi ba Sipiika Rebecca Alitwala Kadaga era omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Kamuli bwe bateeze emmotoka ya munne Deborah Mwesigwa Mugerwa bwe bali ku mbilanyi mu kalulu ne bagikuba amayinja okukakkana nga eyasiddwa endabirwamu.
Mugerwa agamba nti ekibinja kino kyakulembeddwamu Joel Kibiikyo omu ku bakulira kampeyini za Kadaga saako ne Henry Munaaba wamu nabavubuka abalala baagamba nti bakolera ku bilagiro bya Sipiika baasoose kumulemesa kwogerera ku bizindaalo ebiri mu kitundu kye Nawanyago, ekyaddiridde kwe kutandika okumulondoola buli wadda nasalawo okuddukira ku poliisi enkulu e Kamuli kubanga yabadde abekengedde olw’ebissi bye baabadde nayo.
Agamba nti yabadde anatera okukyama ku Poliisi ekibinja kya bavubuka kwe kumusalako mu kkubo elikyama ku Poliisi ne batandika okumubuuza ebibuuzo nga abakambwe nti “lwaki wesimba ku MAAMA waffe”.
“Nabadde ngezaako okubanyonyola wabula tebanninze ne bajjayo ebiso, amayinja saako n’amaccupa ekyaddiridde kwe kukuba emmotoka yange eyekika kya Isuzu Big Horn nnamba UAQ 541J endabirwamu ne bajaasa.
Waliwo omu kubo eyandaze emmundu nantegeeza nti bwe nzira mu byalo bagenda kunzita, kyokka ekyewunyisa nti bino byonna baabadde babikola nga ne Poliisi ye Kamuli elaba kyokka nga teri afaayo yadde amanya ga bantu abantuusizaako obulabe gonna nagabagambye naye teri muntu noomu yakwatiddwa ku nsonga eno” Mugerwa bwe yagambye.
Yanyonyodde nti embeera e Kamuli emutulugunyizza nnyo kubanga buli kaseera atisibwatiisibwa okuttibwa naye teri mukulu yenna mu poliisi afaayo kumuyamba ne bwabanyonyola kyagamba nti kitadde obulamu bwe mu katyabaga.
Yaguddewo omusango ku poliisi enkulu e Kamuli kyokka naasaba obutafulumya nnamba ya Fayiro olw’okutya omusango ogujolongebwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com