OMUKUBIRIZA w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga avudde mbeera nasalawo okutumya Minisita we nsonga z’omunda Gen. Jeje Odongo alabikeko mu maaso ga Palimenti anyonyole ku bikwata ku kutulugunyizibwa kw’omubaka wa Mityana Munisipalite Francis Zaake Butebi.
Zaake yakwatibwa poliisi ye Mityana gye buvuddeko ku bigambibwa nti yali agaba emmere mu batuuze ekikolwa ekyawerebwa omukulembeze we Ggwanga era natulugunyizibwa byansusso ekyamuviirako okufuna ebiwundu ebyamaanyi era nga kaati ajjanjabibwa mu ddwaliro e Lubaga.
Bwabadde aggulawo olutuula lwa Palimenti ku lw’okubiri Sipiika kadaga agambye nti yagenze mu ddwaliro nakyalirako ku mubaka Zaake kyokka ekyamwewunyisizza kwe kuba nti yamusanze mu mbeera mbi oluvanyuma lw’okutulugunyizibwa abakuuma ddembe.
“Newunyizza okusanga omwana nga amaaso gonna bagakuba era nga tegalaba bulungi, okusinziira ku mbeera gyalimu Minisita Jeje Odongo alina okujja wano ku lw’okuna atunyonyole ku mbeera lwaki omubaka omulamba yakubwa okutuuka ku ssa lino” Kadaga abadde omukambwe bwagambye.
Ayongeddeko nti yeetaaga buli eyali emabega w’okutulugunya Zaake akwatibwe avunanibwe kubanga ekikolwa ekyakolebwa ku mubaka omulamba kyali kimenya mateeka.
Pulezidenti Museveni naye gye buvuddeko yavaayo nanenya abakuuma ddembe okukwata zaake kyokka nga nabantu abalala okuli ne ba Minisita baagenda mu maaso n’okugaba emmere mu lujjudde.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com