EKITONGOLE kya Poliisi kivuddeyo ne kitangaaza ku nsonga lwaki bakyagaanye okukkiriza omukulembeze we kisinde kya People Power Robert Kyagulanyi Sentamu Bobi Wine okukuba enkungaana ez’ekigrendererwa eky’okwebuuza ku balonzi mu ntekateeka gyaliko ey’okwesimba ku kifo ky’obukulembeze bwe Ggwanga.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Ggwanga Polly Namaye ategezezza bannamawulire nti, okuva bwe waaliwo akasambattuko mu kitundu kye Kasangati gye buvuddeko Abakulira akakiiko ke by’okulonda, Poliisi saako ne Kyagulanyi yenyini baavaayo ne nsonga 10 ezaalina okugobererwa wakati mu kukuba enkungaana ze, era nga yalina okubabuulirako bwe yali alina okukikola nti kyokka n’okutuuka kati tebamuwulizanga.
Agambye nti kino kitegeeza nti tanaba kutuukiriza bisanyizo ebyatesebwako, olwo alyoke akkirizibwe okwebuuza ku balonzi bwaba nga ayagala okwesimbawo ku kifo ky’obwa Pulezidenti.
Anyonyodde nti nga ennaku z’omwezi 31ne nga 18.02.2020, akulira ebikwekweto mu Poliisi yawandiikira Hon. Kyagulanyi nga amujjukiza okuwayo empapula okuli entekateeka ze, nti kyokka n’okutuusa kati omubaka tabaddangamu.
Ku mande Poliisi n’amaggye byakedde kuyiibwa ku wooteeri ya Pope Paul mu Ndeeba awabadde wategekeddwa olukungaana lw’okwebuuza ku balonzi mu kitundu kya Kampala ku mbeera ya kalulu ka 2021.
Wabula Poliisi egamba nti okujjako nga Kyagulanyi amaze okutuukiriza obukwakkulizo bwonna obwatesebwako mu lukiiko era ne yetereza n’ekitongole kya Poliisi awatali kukola ekyo enkungaana ze zikyali mu lusuubo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com