OMUVUBUKA Brian Bagyenda mutabani wa Ssenkulu we kitongole ekikettera munda mu Ggwanga ISO Col. Kaka Bagyenda ne bannae 2 ebigambo bibononekedde, bwe basingisiddwa omusango gw’okutta omuwala Enid Twijukye, omulamuzi nabasindika mu kkomera bamaleyo emyaka 30.
Twijukye yali muyizi mu Ttendekero lye Ndejje, era kigambibwa nti okugenda okuttibwa yali yakamaliriza emisomo gye nga alinda kutikkirwa.
Omulamuzi Moses Kazibwe owa kkooti enkulu mu Kampala ku mande ye yasingisizza omusango gw’obutemu Bagyenda nga ono musawo omutabuzi we ddagala, wamu ne banne okuli Innocent Bainomugisha 24, nga ono yali akola gwa kulongoosa saako ne Vicent Rwahirwe 28 nga naye yali mukozi wa waka.
Okubasingisa omusango omulamuzi yesigamye ku bujulizi bwa bantu 16 obwaletebwa mu kkooti, bwe yagambye nti bwali bulunira ddala buterevu abawawabirwa nti baalina omukono mu kufa kwa Twijukye.
Mu kusooka Omulamuzi Kazibwe yagaanye ekya ba Pulida ba bawawabirwa 2, ababadde basabye omulamuzi abakendereze ku kibonerezo nti kubanga baali bakolera ku biragiro bya mukama wabwe Bagyenda, nagamba nti kyatagenda kukola kwe kubawanika ku kalabba yadde nga kye kibonerezo ekisembayo mu musango ogw’ekikula kino.
Yagambye nti Twijukye yali akyali muwala muto, era nga n’abenganda ze baamulinamu essuubi lyamaanyi mu biseera bye eby’omumaaso, nti naye kyenyamiza okulaba nga abawawabirwa byonna babisaanyawo mu kaseera akatono, bwatyo nabasindika mu kkomera e Luzira beebakeyo emyaka 32, nga ojjeeko 2 gye bamaze ku alimanda.
“Musobola okusaba okujurira ku kibonerezo kye mbawadde mu bbanga lya nnaku 14, bwe muba nga temukkanyizza nakyo” Kazibwe bwe yabagambye.
Oludda oluwabi lwategeeza kkooti nti nga 4,01,2017 mu kitundu ekimanyiddwa nga Njobe Poad e Luzira mu Division ye Nakawa abawawabirwa baasalawo okumalawo obulamu bw’omugenzi Twijukye gwe baawamba ne bamutugisa akatto k’okubuliri, oluvanyuma ne bakunguzza omulambo gwe ne bagusuula mu bitundu bye Seeta Mukono gye gwasangibwa nga wayiseewo ennaku.
Nga 18.01.2017 Poliisi yakwata Bagyenda ne banne oluvanyuma lw’okufuna olukalala lwamasimu okuva ku ssimu y’omugenzi nga lulaga nti ye yali asembye okwogera naye ku lunaku lwe yava mu maka ga mugandawe agasangibwa e Namugongo Kira.
Mu kiseera ekyo Twijukye yali akola mu Ssemaduuka wa Capital Shoppers e Ntinda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com