OKUFA kwa Ssenkulu wa kakiiko ke ddembe lyobuntu mu Ggwanga Medi Kaggwa kukubye bangi enkyukwe, kubanga Ensi yonna yamulabyeko olunaku lwe ggulo ku mikutu gya mawulire nga akola emirimu gye ku kitebe kya kakiiko e Naggulu.
Olunaku lwe ggulo lwe lwabadde olunaku oluddirira olunaku lwa baana olwe Nsi yonna, era nga aliko omwana gwe yasigidde offiisi ye mu ngeri y’okulaga abaana abato nti bamugaso mu ggwanga era nti bebalindiridde okutwala emirimu egyo nga abakulu bavudde mu zi offiisi.
Oluvanyuma lw’okusangibwa mu mmotoka ye nga ataawa, kitegerekese nti abadde yasuze teyewulira bulungi, era nga yabadde ategezezza abantu bawaka nga bwakeera okugendako mu ddwaliro lya Case Hospital okufuna obujjanjabi.
Kitegerekese nti Med abadde tasula na mukuumi we saako Ddereva we era yensonga lwaki asangiddwa mu mmotroka nga alimu yekka.
Abantu bo ku kyalo kye mulago abamanyi emmotoka ye bwe balabye nga esibye tevaawo kwe kugenda okwetegereza ogubadde, bagenze okugezaako okuggulawo nga enzigi nsibe ne basalawo okukuba akalabirwamu ke mabega ne baggulawo.
Bamuddusizza mu ddwaliro kyokka ebyembi bagenze okumutuusaayo nga yamaze dda okufa.
.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com