ABA kakiiko ke byokulonda baagala ensimbi z’okwewandiisa zeyongereko naddala ez’omukulembeze we Ggwanga nababaka ba Palimenti.
Bano bagamba nti wakiri abaagala obwa Pulezidenti ensimbi zilinyisibwe okuva ku bukadde 10 okutuuka ku bukadde 100 ate eza babaka mu Palimenti zive ku bukadde 3 zirinyeko waggulu okutuuka ku bukadde 10.
Mustapha Ssebaggala Kigozi omu ku bakungu mu kakiiko ke byokulonda agamba nti zino ensimbi tezilina buzibu kubanga zilaga obuvunanyizibwa eri abantu ne bifo bye baba baagala okugendako nga kwotadde n’obuvunanyizibwa obubolekedde okulaba oba babusobola.
Okwogera bino abadde addamu abalwanirira eddembe lya Bakyala abalaze nti ensimbi akakiiko ke by’okulonda ze kasaba abagenda okwesimbawo mpitirivu bwe babadde batongoza kawefube w’okulanba nga abantu abakuze beewandiisa okusobola okulonda nga omukolo gubadde ku Imperial Royale mu Kampala.
Kigozi anyonyodde nti okw’ongezebwa kwe nsimbi zino baamaze dda okukuteeka mu bbago eliggya lye baatwala mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu era nga balindirira babaka kulisemba babiteeke mu nkola mu kulonda kwa 2021.
Yayongeddeko nti yadde abantu bagamba nti ensimbi ezo nnyingi, bbo nga akakiiko balaba zimala kubanga omuntu okutuuka okuvaayo yesimbewo ku bubaka era naayitibwa owe kitiibwa ssi kyangu era aba alina okulaga obusobozi bwe mu nsawo era na balonzi ne bamanya nti wabuvunanyizibwa era alina obusobozoi okubakulembera n’okubateseza ne balema kulowooza nti agenda kukola nsimbi kyokka mu Palimenti gyagenda.
Wabula eyaliko Omubaka mu Palimenti ya East Africa Sheila Kawamala n’akulira ebyamawulire mu kitongole kya CCEDU Charity Ahimbisibwe bagambye nti eky’okwongeza ensimbi zino kigenda kutiisa abaagala okwesimbawo naddala abakyala, era kiraga nti akakiiko kalabika kaagala kufuula byakulonda mbeera ya byanfuna.
Bino we bijjidde nga Palimenti yamala okukungaanya ebirowoozo okuva mu bantu ebikwata ku mateeka ge by’okulonda amapya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com