MINISITA we by’okwerinda Gen. Elly Tumwine akombye kwerima ne yerema okulambula omuwendo gw’amayumba omusibirwa abantu (Safe Houses) ebitongole bye by’okwerinda bye galina mu Ggwanga.
“Nze sisobola kwogera nsonga zikwata ku bya kwerinda mu lujjudde lwa bantu mundeke ndi muselikale mutendeke” Tumwine bwayongeddeko.
Abadde azeemu okulabikako mu kakiiko ke ddembe ly’obuntu aka Palimenti okwongera okunyonyola ku bikwata ku mbeera y’okutulugunya abantu abasibibwa mu mayumba ag’atekebwawo ab’ebyokwerinda okwetoloola eggwanga lyonna.
Kinajjukirwa nti Tumwine bwe yali mu kakiiko kano gye buvuddeko, yalagirwa Ssentebe waako Omubaka omukyala owe Buvuma Jenifer Nantume Egunyu okujja n’akulira ekitongole ekikettera mu Ggwanga ki ISO, kyokka olwaleero bwalabiseeko azze yekka, era bwabuuziddwa omuntu gwe yatumibwa azzemu nti bamubuulire kye bamwetaaza amutwalire amawulire ajja kubaddamu nga ayita mu ye Minisita Tumwine.
Bino bitabudde ababaka okuli owe Kawempe North Latif Ssebaggala, nategeeza Tumwine nga bwatayambye kakiiko kano kusobola kuzuula kituufu, ate nga abantu bangi bakyagenda mu maaso n’okulumiriza ebitongole bye by’okwerinda nga bwe bitulugunya abantu mu mayumba.
Omubaka Nantume agambye nti bagenda kuvaayo ne alipoota eyawamu nga akakiiko bagitwale mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu ababaka bagiteseeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com