OMUVUBUKA Baker Kasumba akiguddeko abantu abatanategerekeka bwe bamuzindukirizza nga agenda okulaba ku nnyina ne bamukomerera emisuumaali mu bibatu nga bamulanga okwambala akakofiira ka NRM.
Kasumba 21 nga mutuuze wa Zone ya Avis ku Kalerwe mu Kampala, era nga okusinziira ku Poliisi yavudde ku mulimu gwe okudda eka akawungeezi wabula bwe yatuuse mu kkubo najjukira nti yabadde amaze akaseera nga talaba ku nnyina nasalawo okugendayo amulabeko.
Era nga wano yabadde ayambadde akakofiira k’ekibiina kya NRM nga ekola ye bulijjo ku mulimu.
Wano yasanze abasajja 2 abamusazeeko ne bamukwata ne bagenda mu maaso n’okumukuba oluvanyuma ne baleeta emisumaali gya yinsi 6 ne bamugatta ebibatu ne bamukubirako n’akakofiira akaliko ekifananyi kya Pulezidenti Museveni.
Ono yatasiddwa abakyala 2 ababadde batambula ebyabwe, era be baayise poliisi ye Kalerwe, eyamujjeewo ne mutwala mu ddwaliro e Mulago.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Patrick Onyangoagambye nti omuyiggo okuzuula abakoze kino gugenda mu maaso okusobola okubakwata.
Okusinziira ku Kasumba agamba nti gye buvuddeko waliwo omusajja eyajja wakolera namulabula okukomya okwambala enkofiira ye kibiina kya NRM saako n’okuwagira Pulezidenti Museveni.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com