PULEZIDENTI Yoweri Kaguta Museveni akombye kwerima nagaana okuwa abakulembeze ba bavubuka ensimbi obukadde 10 buli ze baabadde bamusabye abadduukirire ssekinoomu, nga bagamba nti balina emirimu gye baatandikawo egyetaaga okwongeramu ensimbi.
Bino byonna byabaddewo Pulezidenti bwe yabadde abakyalidde okuggalawo ttabamiruka w’abavubuka e Jinja ku lw’okusatu, Abakulembeze baabwe basoose kumutegeeza nti awatali kwesalamu bagenda kwekunga okulaba nga bamunonyeza obuwagizi eggwanga lyonna asobole okuwangula akalulu mu 2021, nga balowooza nti agya kukyamuka ayisewo ekintu kyabwe, wabula kyababuuseeko bwe yabategezezza nti n’omulundi n’ogumu tayinza kukwata bukadde 10 kubuwa buli muvubuka eyetabye mu ttaba miruka ono, kubanga baabadde bakunukkiriza mu 2000 nga singa yetantala yadde okubasuubiza kyandibadde kizibu okutuukiriza naabamatiza.
“Baana bange saagala mubeerenga ababaka bammwe bwe bawemuka nga baagadde okweyongeza emyaka 2 ku kisanja kyabwe, ate nze nali nabalabula, era n’abalamuzi ne bakiraba ne basalawo nti tekyali kya bwenkanya, lwaki mwagala okwefaako mwekka nga ababaka bamwe kye baali bakoze? olwo bannamwe be muleseeyo tubakole tutya? banange ekyo sisobola kukikola.” Museveni bwe yagambye.
Yabategezezza nti eky’okubayambako takirinaako ttabbu, kubanga yamala dda okutekawo obuwumbi 3 mu obukadde 500 ezigenda okuyamba ku bibiina by’okwekulakulanya eby’abavubuka mu ggwanga lyonna, nagamba nti bwe baba baagala okuzifunako basooke beegatte wamu bakole ebibiina ebimanyiddwanga Sacco ensimbi ezo ziyitire omwo zibatuukeko beekulakulanye nga bwe bagamba.
Nga amaze okuvaawo omukulembeze we Ggwanga abavubuka baakubaganye ebikonde ne nsamba ggere nga balwanira ensimbi ze ntambula, nga kino kyavudde ku kuba nti abavubuka bangi abatabadde ku nkalala zaabo abalina okusasulwa beesolosezza ne bayingira ttabamiruka mu lukujjukujju.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com