GEN, Elly Tumwine era nga ye Minisita w’obutebenkevu atabukidde akakiiko ka Palimenti akakwasisa empisa ku bigambibwa nti yatisatiisa omubaka Cecillia Ogwal, n’abajjukiza nga bwatakyalina riiso lye elyagendera mu lutalo nga balwanirira okuleeta eddembe mu Ggwanga.
“Bwenjogera ku kwerekereza n’okwewaayo okuleeta emirembe mu ggwanga lino temwagala tubyogereko ate nga gemazima, omuntu ne bwaba tayagala kubiwulira.
Bannaffe bangi betwali nabo mu nsiko baafiirayo era tebasobola kulaba ku mirembe gyetwalwanirira, ate namwe mwemweyagalira kati okukyogerako musango ogutuusa n’okumpisa wano.
Kati kino kilina okukoma kubanga tekijja kuvaawo nti ffe twalwanirira emirembe gyemweyagaliramu” Gen. Tumwine bwagambye ababaka ababadde bamwegese amaaso.
Omubaka Abudu Katuntu amusabye eyo okuvaayo ayogere ku nsonga ezamuyisizza mu kakiiko okuli okutiisatiisa omubaka Ogwal, era namujuliza akatambi akakwatibwa nga yekalakaasa mu nkuubo za Palimenti.
Wano Tumwine agambye nti teyatiisatiisa mubaka munne Ogwal, era nasaba obudde addeyo yekennenye akatambi ako akomewo mu kakiiko.
Gen Tumwine yatwalibwa mu kakiiko akakwasisa empisa aka Palimenti oluvanyuma lwe bigambibwa nti yavaamu ebigambo ebitaali bilungi ku mubaka wa Dokolo Cecillia Ogwal saako n’okutyoola Sipiika w’olukiiko lwe ggwanga olukulu Rebecca Kadaga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com