EKITONGOLE kya Poliisi ye Ggwanga batandise kawefube agendereddwamu okuwandiika abaselikale abalala 5000, nga bano omulimu omukulu gwe bagenda okukola kuyambako mu biseera by’okulonda okubinda binda mwaka gwa 2021.
Kubano kugenda kubeerako 4500 ab’eddala ery’awansi abamanyiddwanga “Police Constables” ate 500 bagenda kufuluma nga bamayinja 3 nga bebagenda okukulira banaabwe.
Bano era bagendanga kuyambako okulwanyisa obumenyi bwa mateeka omuli n’obutemu obukudde ejjembe mu bitundu okuli Kampala ne Wakiso, saako n’okulaba nga eby”okwerinda byongera okunywezebwa mu biseera by’okulonda.
Amyuka omwogezi wa Poliisi ye Ggwanga Poly Namaye ategezezza nti bagenda kuwandiika abavubuka abakyalinamu ku maanyi abali wakati we myaka 18-25, era nga bakumala omwaka mulamba nga batendekebwa.
Namaye agambye nti basazeewo okussaako wansi ebisanyizo by’obuyigirize okuva ku siniya ey’omukaaga okudda ku siniya ey’okuna okusobozesa abavubuka abatagenda wala mu byakusoma okwegatta ku Poliisi ye Ggwanga.
Anyonyodde nti bano balina okuba nga baayita bulungi amasomu okuli okubala saako n’oluzungu kyagambye nti abatabiyita tebagenda kubayingiza kubanga bakizudde nga abaana bangi abaayita ebigezo baagala okwegatta ku Poliisi.
“Tetugenda kuttira muntu yenna ku riiso anaaba atuletedde ebiwandiiko ebijingirire, kubanga bangi mu kuwandiika okuyise babadde babileeta era tujja kubakwata” Namaye bwe yagambye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com