ABAKULIRA Kkampuni y’Abachina emanyiddwanga CCC ekola oluguudo lwa Entebbe Express High Way saako n’oluva e Kajjansi okudda e Munyonyo bagambye nti kati balumalirizza ebitundu 96 ku 100, nga essaawa yonna bagenda kulukwasa gavumenti, mu butongole.
Ssenteza yagambye nti okusomoozebwa okubaddewo kwekubeera nti ebitundu ebimu waliwo abantu abaalina okwemulugunya mu kuliyirirwa ne beesanga ng’enteekateeka eyalina okugobererwa eyimirizibwa.
Ekiseera kino obuzibu obuliwo nti abantu bagenda ne babba obupande obwebyuma obusimbiddwa ku kkubo okulagirira abagoba ba mmotoka n’abamu ne basala akatimba ekiwadde omwagaanya ebisolo ng’ete n’embuzi okutayaayiza mu kkubo lino, kyagamba nti kiyinza okuvaako obubenje.
Ekyababbi abaali batandise okuteegerako abantu Ssenteza ategeezezza nti bakinogedde eddagala kubanga kati kubeerako kabangali za poliisi emisana n’ekiro nga zirawuna ekitundu kyonna okulaba nga tewali muntambuze afuna buzibu bwonna nga atambula yadde mu budde bwe kiro.
Oluguudo luno luliro km 36 okuva e Busega okugenda e Ntebe ekiyambyeko okukendeeza ku kalippagano k’ebidduka kubanga ku luguudo lwa Entebbe olukadde jaamu abadde akwata emmotoka omuntu n’asanga ng’atambulidde essaawa bbiri okuva e Kampala.
Gavumenti ya Uganda yeewola obukadde bwa ddoola 476 okukola oluguudo luno. Ng’oggyeko Entebe Express Way, kkampuni y’emu eri mu mulimu gw’okuzimba okugaziya ekisaawe ky’ennyonyi.
Omulimu gw’okugaziya ekisaawe gwakuwemmenta obukadde bwa ddoola 325 nga gwakumala emyaka etaano. gwatandika mu 2016 gumalirizibwa 2021
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com