POLIISI ye Jinja evuddeyo nekkiriza nti eliko amassimu ge yalonda 3 nga gano ekyatubidde nago mu offiisi y’addumira Poliisi DPC mu kitundu kino, oluvanyuma lwa katuubagiro akaliiwo ku lunaku lw’omukaaga wiiki ewedde Poliisi bwe yali eremesa Dr. Besigye okukuba olukungaana lwe by’obufuzi mu kibuga kye Jinja.
Omwogezi wa Poliiisi mu kitundu kino Diana Nandawula nga ayita ku gumu ku mukutu gwa Mawulire ogwa The City Press agambye nti wakati mu kukakkanya abawagizi ba Dr. Kiiza Besigye, waliwo amasimu 3 Poliisi ge yalonda era nga balindiridde bannanyini go abatuufu okuganona ku poliisi ye Jinja.
Kino kidiridde akatambi akabadde kayitingana ku mikutu emigatta bantu nga kalaga nga abapoliisi baliko omusajja gwe baali baggalira wansi mu kabangali kyokka omulala naasika essimu ya munnamawulire Ronald Muhinda okuva mu nsawo ye nagyezibika.
Nga okuva olwo Bannamawulire babadde bateeka Poliisi ku nninga ekomyewo essimu ya munnabwe, okutuusa olwaleero omwogezi wa poliisi Diana Nandawula bwavuddeyo nalaga nti balina essimu 3 ze batanamanya banyinizo, era nasaba ababulwako essimu zaabwe bagende ne bizogerako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com