ABATUUZE ku byalo 3 mu Gombolola ye Kimenyedde e Nakifuma mu Mukono ge bakaaba ge bakomba oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti ettaka kwe bali lyagulwa omu ku bagagga b’eKampala nti era atekateeka kubasengula.
Bano ab’okubyalo okuli ekye Nkulagirire, Kabulo ne Makukuba basangiddwa ku offiisi y’omubaka wa Gavumenti e Mukono Fred Bamwine nga beemulugunya nti bamaze ebbanga ddene ku bibanja bino era nga babadde tebafunanga kutaataganyizibwa mu nsonga za ttaka.
Mze alifaazi Nsubuga 78 omutuuze ku kyalo Nkulagirire agamba nti tebakyebaka ku tulo olw’abasajja b’omugagga ono okubalarikanga buli kadde nti balina okuva ku ttaka lya mukama wabwe.
Ategezezza nti yazalibwa ku ttaka lino era kwakulidde nga kwe kuli n’ebiggya bya bakadde be byonna, nti naye kyamwewunyisizza okulaba nga wavaayo omuntu gwatawulirangako nga yeyita nanyini ttaka, era nti atandise n’okubagaana okusimba emmere.
Omubaka wa Gavumenti e Mukono Fred Bamwine yabasuubizza okuyingira mu nsonga zaabwe alabe nga teri muntu yenna agenda mu maaso n’okubatiisatiisa.
Yabategezezza nti ettaka omuntu waaba aliguze ayita mu mitendera, nasuubiza okukola okunonyereza azuule omuntu ali emabega wabino byonna.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com