• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Olusirika lwa NRM e Kyankwanzi lutabudde akabondo ka Buganda

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
2 years ago
in Luganda, News, Politics
8 0
Share on FacebookShare on Twitter

ABABAKA ba NRM abali mu lusirika e Kyankwanzi eky’okutondawo akabondo k’ababaka b’ekibiina  abava mu Buganda, kitabudde bannaabwe abataagenze ne bagamba nti kyakoleddwa kunafuya kakiiko kaabwe n’okubonereza ababaka abaagaana okuwagira eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Ababaka ba NRM baatonzeewo akabondo akaabwe akataabaddeewo akagenda okugatta ababaka abava mu Buganda ke baatuumye NRM Buganda Caucus.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa omwogezi wa NRM, Rogers Mulindwa omulimu gw’akakiiko akaalondeddwa gwa kukwataganya mirimu gya kibiina mu Buganda.

Abaalondeddwa baaweereddwa obuvunanyizibwa bw’okuperereza Gavumenti ya wakati okulaba ng’eteeka pulojekiti z’okukulaakulanya Buganda n’okukwatagana n’Obwakabaka mu kaweefube w’okuwagira emirimu gy’okwekulaakulanya.

Hill Water
Olukiiko luno olwatudde ku Ssande akawungeezi baalonze James Kakooza (Kabula) ku bwa ssentebe ng’amyukibwa Syda Bbumba (Nakaseke South).

Muyanja Mbabaali (Bukoto South) muwanika, Joseph Kasozi Muyomba (Bukoto Mid-West) muwandiisi, Simeo Nsubuga (Kasanda South) waamawulire, Dr. Michael Bukenya mmemba ne nampala wa Gavumenti, Ruth Nankabirwa yalondeddwa ku bwammemba nga Ex-Official.

Omuyima w’akabondo k’ababaka ba NRM ye Sam Kahamba Kuteesa (Mawogola North) era minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga.

Omubaka wa Kassanda South, Simeo Nsubuga yagambye nti obukulembeze bw’akabondo k’ababaka abava mu Buganda akagatta endowoozo z’ebyobufuzi zonna kakyaliwo era nga Muyanja Senyonga ye ssentebe waako.

Yagambye nti ekyakoleddwa baayagadde kwongera kwetereeza munda mu NRM n’okutema empenda endala ez’okutwalamu Buganda mu maaso.

Kyokka ye Moses Kasibante  yagambye nti ekyakoleddwa tekyazze mu mutima mulungi era akirabamu ekigendererwa ky’okwawula mu babaka ba Buganda.

Yagambye nti  nabo bandibadde basobola okukola obubondo obwefananayiriza naye tebakisobola kuba bakimanyi bulungi nti Kabaka y’abagatta nga tebafudde ku ndowooza za byabufuzi.

Francis Zaake (Mityana Munisipaali) yagambye nti: Mu mbeera nga ssentebe Muyanja Senyonga, omumyuka we Sarah Nakawunde Temulanda n’abakulembeze mukaaga ku munaana nga bamaze okugaana okuggya ekkomo ku myaka gya pulezidenti, ebintu bye kika kino tebyewuunyisa.

Nakawunde (NRM) nga naye yabaddeyo e Kyankwazi yagambye nti tasuubira nti olukiiko lwabwe lugenda kunafuwa wadde ng’abantu bangi balina endowooza bwetyo era asuubira nti abaalondeddwa bagenda kwongera ku ddoboozi lyabwe mu kukulaakulanya Buganda.

Ensonda e Kyankwanzi zaategeezezza nti ng’okulonda tekunnabeerawo, ababaka ba NRM mu Buganda baasoose kunenya Muyanja Senyonga olw’okunyooma ekibiina n’agaana okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti n’omumyuka we Nakawunde wadde ng’ekibiina mwe bava kyali kisazeewo bawagire okugikwatako.

Ku lukiiko olw’abantu 9 aba Buganda Caucus, ababaka 3 be baawagira okuggyawo ekkomo mu myaka nga kuliko Haruna Kasolo, Amos Lugoloobi ne Simeo Nsubuga ate abalala 6 okuli Muyanja, Nakawunde, David Lukyamuzi, Babirye Kabanda, Florence Namayanja ne Kato Lubwama ne bakiwakanya.



Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share78Tweet1Send
Previous Post

Nsereko: It is only unity that can help us defeat Museveni

Next Post

INTERVIEW: Businessman Rujugiro says Rwanda cannot offer Uganda anything, Kagame has a lot of explaining to do

Next Post

INTERVIEW: Businessman Rujugiro says Rwanda cannot offer Uganda anything, Kagame has a lot of explaining to do

Subscribe to Our Newsletter

Our news in your inbox. Subscribe to receive Watchdog Uganda news in your email at no cost.

Check your inbox or spam folder to confirm your subscription.

Facebook Twitter

Contact Information

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

© 2020 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda

© 2020 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Create New Account!

Fill the forms below to register

All fields are required. Log In

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In