POLIISI ye Natete mu Kampala eli ku muyiggo okusobola okuzuula omusajja eyalabirizza eyali mukaziwe n’amubbako omwana ow’emyaka 6.
Yahaya Kibirango yanoonyezebwa oluvanyuma lw’okugenda mu maka g’eyali mukaziwe Sophia Nakijoba namubbako omwana Sonia Nakibirangoabadde asoma ekibiina eky’okubiri.
Sophia Nakijoba nnyina w’omwana yagambye nti, muwala we, yabuzibwaawo ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde oluvannyuma lw’okukyaza eyali bba Kibirango awaka e Nateete mu Makaayi zooni.
Yagambye nti, baayawukana ne Kibirango mu 2017 nga bafunye obutategeeragana n’asigaza omwana era okuva lwe yatandika okusoma y’abadde amuweerera ng’era abadde agenze mu P2.
“Bwe namukubira yayogera bisongovu ng’abasajja abansigula bwe balemeddwa okundabirira kati musaba ssente za kwerabirira. Nayagala muyite awaka alabe omwana w’abeera aleme kulowooza nti njagala ssente ze, kyokka bwe yajja nali simanyi nti alina kigendererwa kyakunzibako mwana wange” Nakijjoba bwe yategeezezza.
Yayongeddeko nti, yatuuka ku ssaawa emu ey’akawungeezi ne boogera okutuuka ku ssaawa nga 5:00 wabula yalaba tebakwataganye kwe kusalawo asooke yeewunguleko katono oluvannyuma baddemu okwogera yagenda okudda awaka nga Kibirango n’omwana tebaliiwo.
Yaddukidde ku poliisi y’e Nateete n’aggulawo omusango gw’okumubbako omwana ku fayiro SD 43/13/02/2019.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti, okuwamba musango era banoonyereza singa banaakizuula nti, Kibirango omwana yamuwambye buwambi bwe banaamukwata ajja kuvunaanibwa ogw’okuwamba omwana okuva ku nnyina
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com