EYALI akulira ekkitongole ekikessi mu Poliisi Col. Ndahura Atwooki atereddwa ku kakalu ka Kkooti y’amaggye etuula e Makindye, naalagirwa obutetantala kufuluma Kampala ne Wakiso okujjako nga afunye olukusa okuva eri akulira kkooti eno.
Ndahura atereddwa ku ssawa 4:00 ez’okumakya oluvanyuma lwa Ssentebe wa Kooti y’amaggye Lt. Gen Andrew Gutti okuwuliriza okusaba kwe okumala akaseera nga agamba nti mulwadde yeetaaga obujjanjabi.
Gutti era amulagidde okusasula ensimbi obukadde 10 obutali bwa buliwo saako n’abamweyimiridde obukadde 5 nazo nga sizabuliwo.
Col. Ndahura avunanibwa emisango egy’ekuusa ku kuwamba era nazzaayo bannansi b’eggwanga lya Rwanda abaali bajja mu Uganda nga banoonya obubudamu mu mwaka gwa 2012 ne 2016.
Era ono avunanibwa ne banne okuli eyali Omuddumizi wa Poliisi Gen. Kale Kayihura, Herbert Muhangi eyali akulira ekitongole kya Flying Squard, eyali akulira ebikwekweto munda mu Poliisi Nixon Agasirwe n’abayambi baabwe okuli Richard Ndaboine ne Patrick Mulamira.
Abalala kuliko abaselikale abaali mu kitongole kya Flying Squard okuli Jonas Ayebaza ne Abel Kitagenda.
Nga ayita mu Puliida we Evans Ochieng, Col. Ndahura alazeeyo ebbaluwa ze azilaga nti mulwadde eyetaaga obujjanjabi amangu ddala, kubanga mulwadde wa sukkaali ate mu kkomera tafuna byakulya bimala.
Oluvanyuma kkooti y’amaggye ekkirizza okusaba kwe era Gutti nagamba nti kituufu mu kkomera lyabwe tebalina mmere gyalina kulya, bwatyo namulagira addeko awaka.
Ono abadde amaze ennaku 210 mu kabulamuliro e Makindye, era nga omu ku bamweyimiridde kubaddeko munnamaggye eyawummula Capt. Donozio Kahonda era omubaka wa Shema mu Palimenti.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com