Bya Nansamba Shadia, Kalangala
Mu kaweefube w’okunyweza eby’okwerinda ku mazzi naddala abo abasaabaliriko, abakulembeze be Kalangala bayisizza ebiragiro nga kuno kuliko obutatikka bantu banywedde mwenge n’okukwata amaato agasaabaza abantu nga tebalina life jacket.
Bino babituseeko mu lukiiko olutudde ku kitebe kya Disitulikiti e Kalangala nga lubadde lukubirizibwa omubaka wa Pulezidenti Daniel Kikoola.
Olukiiko luno lwetabiddwamu abaddukanya entambula y’okumazzi okubadde Sadala Musoke ow’e Mmeeri ya MV- Kalangala ne John Opondo ono nga yakulira entambula y’ebidyeeri.
Ssentebe wa District ye Kalangala Willy Lugoloobi, agamba nti tebagenda kukkiriza bantu batamidde kutambulira ku bidyeeri nti kuba ssinga wagwawo obuzibu tekibeera kyangu kyakubataasa wadde nga bayambadde life Jacket.
Lugoloobi agamba bataddewo ne poliisi egenda okulawuna abatambulira ku maato nga ly’ebanasanga nga tebalina life jacket lyakukwatibwa era nebabalabula nokutikko obubindo.
Waliwo ne poliisi erawuna amazzi eyatereddwawo ng’eno yakukwata abagoba ba maato abanasangibwa nga tebayambadde jacket ziyambako kutaasa bulamu bwabwe ssinga ery’ato libeera lifunye obuzibu.
Lugoloobi yategeezeza nti wabaddewo okulagajjirira obulamu bw’abantu nga nabamu babadde batambula ng’abalina Jacket kyokka nga bazituddeko mu kifo ky’okuzambala ekintu kyebagambye nti
Ye RDC Daniel Kikoola yagambye nti babadde balina okusaawo embeera enasobozesa okuyamba abantu obutafuna bubenje ku mazzi era nga kino kibadde kyetaagisa kukolebwa nga bali wamu nabavunanyizibwa ku ntambula ye Kalangala.
ENDS.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com