Bya Moses Kizito Buule
BANNAUGANDA basobeddwa eka ne mu kibira, oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti etteeka elijjawo omusolo ogw’ekitundu ekimu ku buli nsimbi ezisindikibwa n’okuzijjako mu nkola eya Mobile Money ligenda kuteekebwa mu nkola, olwo basasulenga obutundu tundu butaano nga bwe kyayisibwa Palimenti omwezi oguwedde, kyokka nga ensimbi ezibadde zibasalibwako ab’aMinisitule ye by’ensimbi bagamba tebagenda kuzisasula.
Mu mwezi gw’omusanvu omwaka guno Pulezidenti Museveni yalagira aba makampuni ge bye mpuliziganya okuddiza abantu ensimbi zaabwe zonna zebabasalako mu nkola gye yagamba nti teyagoberera mateeka, nti kubanga ye yali yalagira obutundutundu 5 sso ssi ekitundu kilamba nga aba makampuni bwe bakola.
Yagamba nti kino yakikola olw’okulumirirwa bannaUganda abaali banyigiriziddwa ku musolo omungi bwe gutyo, kyokka yadde nga n’ababaka baayitibwa mu lutuula olwali olw’enjawulo ne batuula era ne bakuba akalulu, omusolo ne gusigalawo naye nga gukendeddeko katono okusinziira nga bwe kyali, wabula n’okutuuka olw’aleero omusolo guno gukyasalibwa ku bakozesa Mobile Money.
Olunaku lwe ggulo mu lutuula lwa Palimenti Minisita omubeezi ow’ebyensimbi yakatemye bannaUganda nga ensimbi zaabwe ezibadde zibasalibwako bwe zitagenda kubaddizibwa nti kubanga ekyo nga ab’ebyensimbi tebakirina mu ntekateeka zaabwe.
Yagambye nti mu kiseera ensimbi zino we zibadde ziggibwa ku bantu etteeka elizilambika okubaawo libadde mu nkola, kyokka nagamba nti eppya bwe linamala okussibwa mu nkola okutandika ne ssabiiti ejja awo teri ajja kuddamu kusalako nsimbi yonna.
Mu kusooka Omubaka wa Nakaseke Luttamaguzi Ssemakula yatabukidde Minisita Bahati anyonyole lwaki bakyagenda mu maaso n’okukekejjula ekitundu ekilamba ku nsimbi z’abannaUganda ngaate etteeka baamala dda okuliyisa, wabula Bahati namwanukula nti litandika wiiki ejja okukola.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com