Bya Moses Kizito Buule
EYALI amyuka akulira ettendekero ekkulu ely’eMakerere Pulofeesa Venacious Baryamureeba asekeredde abamugamba nti yakoze nsobi okusuulawo ekibiina kye ekya The Peoples Progressive Party n’eyesogga kibiina kya NRM, ono agamba nti bamuleke yasazeewo okukola kyayagala,
“Wano mu Uganda omuntu bwakyusa ekibiina nagenda mu NRM abali ku ludda oluvuganya Gavumenti batandika okusasaanya engambo nti agenze kulya, nze banange nina amakampuni agange ku bwange mangi nnyo, era nina ensimbi n’emirimu egimmala silina nsimbi za NRM zenjagala kubanga nina sili mwavu nga bwe balowooza.
Nze ndi musajja muyigirize ku ddaala ery’awaggulu era siyinza kumala g’ekkiriranya nga mbadde nkola okusalawo, era abo abalowooza nti Uganda ya Pulezidenti Museveni yekka mbasasidde, naffe nga abaana abakulidde ku mulembe guno NRM esinga n’akukwata ku ffe okusinga, abalala abagirimu kati, ate nga abamu kubo baaliko mu bibiina ebilara.
Okwogera bino Baryamureeba abadde ayogerako ne bannamawulire nga addamu ebibuuzo ebibadde bimubuzibwa abantu naddala ab’oludda oluvuganya Gavumenti ababadde bamujerega nti afuuse munnakatemba okudda mu kibiina ate mwe yaliko gyebwavaako.
Yanyonyodde nti tayinza kutunula butunuzi nga alaba ebintu bigenda bubi mu Ggwanga ate nga abaaliwabudde babayita bavuganya Gavumenti kyagamba nti kikyamu kati asazeewo ayingire abeere munda nga mwasinziira okuwabula.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com