Nali mu P3 e Namungoona Primary School naye nga mu class mulimu girlfriend wange nga bamuyita Luwedde.
Twaali tubeera kumpi ne ssomero ng’abaana abamu bwebaba baddayo eka bayita awo ewaffe.
Obuzibu obwaaliwo nti buli lwenavanga ku ssomero nga maama angamba nina kusooka kunaaba nga sinalya emmere ate nga baali banaaza bunaaza.
Kati abaana abasinga nali sibatya, naye aba P3 nga bbo saagala bandabe kuba baali bajja kunjerega mu class.
Kati mu class Luwedde yeeyali girlfriend wange era nga ba chali bange bonna bakimanyi. Naye nga simuliirangamu. Nali nkyanoonya ngeri gyemuliramu.
Lumu nga ntuuka eka nga maama angamba jjamu engoye ojje onaabe. Nga nzijjamu nga nzijja nga batandika kunaaza. Baba bakyanaaza nga nnengera Luwedde ajja. Nawulira nga njagala kuddukawo naye nga sisobola.
Luwedde yasembera. Wuuyo afukamidde abuuzizza maama wange; “Osiibye otya nno maama Ben.” Maama naamuddamu.
Nze nga ndi awo bwereere maama bwanazaako ebyoovu. Katono nfe.
Nemanya kati deal ya Luwedde efudde.
Naye ekyasinga okunnuma, ki Luwedde olwatuuka enkeera nekindalaasa essomero lyonna mbu oyo Ben banaaza munaaze.
Naye seriously, ekyo ekyaana kirabika nemubukulu obufumbo bwakirema. Oluganbo kyaali kikola lwaaki? Ebintu ebimu obisirikira. Bagamba ebyomunju tebitottolwa. Kati kkyo kyannema, kyokka nekinemesa nobubooko obulala bwetwaali nabwo mu P3, ka Jennifer neka Sarah.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com