• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Omukungu wa FUFA Steven Semutono, Muwagizi wa Chelsea, Drogba yali amusuula eddalu

Brian Mugenyi by Brian Mugenyi
3 years ago
in Football, Luganda, News
5 0
Steven Semutono

Steven Semutono

ShareTweetSendShare

SSEMUTONO MUBUMPI

Erinnya: Steven Ssemutono

Emyaaka: 44

Abazadde: Alifonsi Mutyaba ne Elizabeth Nakubulwa

Gyeyasomera: Kimannya, Bukalasa, Kijjabwemi, St Rafael College, Ndejje University

Byakola: Musomesa, Amyuuka kituuzi awamu n’owebyempulizigannya mu FUFA

Esomero lye: Heritage of St Stephen.

Ttiimu jawagira: Chelsea

Omuzanyi eyajimwaaza: Didier Drogba

Bwewabawo ekintu Stephen Ssemutono kyeyenyumirizaamu mubulamu okusingira ddala, guyinza kuba mupiira.

Akozeeko ogwobusomesa wano nawali naye tanafuna kintu kimuwa sannyu nga mupiira era gwakulembeza awaka nemukibira.

Ssemutono, mukaseera kano, yakolanga Fufa Delegeeti webendobendo lya Greater Masaka. Buli nsonga zonna ezekuusa kumupiira mu Masaka bwoba tewegeziwaza oyina kuzibuuza ye.

Ng’omukulembezze, Ssemutono, yalondebwa kukifo kino emyaaka ebiri gyetukubye amabega oluvannyuma lw’olukiiko olutwaala omuzannyo gw’omupiira mu Uganda olukuremberwa Moses Magogo okumulonda.

Entebbe eno, kati mwaatuula yajisigukululamu Meddy Sserwadda.

Ono, annyumya nti teyalondebwa lwakubanga yalina omukisa wabula obwagazi nebyo byakoledde omupiira byebyamutuusa kkukula eryo.

Atandikira ku Chelsea okuwagira

Mubiseera, Didier Drogba eyaliko nakinku mukuteeba amaggoolo ku kkiraabu ya Chelsea weyabegattirako, Ssemutono agamba nti naye weyatandikira okufuna obwagazi bwokuwagira omuzannyo gw’omupiira obwaddala.

Mubutobwe yaliko omuzannyi nadala mumasomero gyeyasomera nga; Kimannya ne Kijjabwemi gyeyatulira siniya eyokuna.

Wabula yabirengerera wala nga nabi, nti ekyokuguzannya kyali kiyinza obutamuwa sannyu limala bwatyo nasalawo okuguwagira. Wano takomye kubeera muwagizi kyokka wabula kati bwebayita abagukulembera naye abeeramu.

Muntandikwa, Ssemutono, yatandikira ku Chelsea okuwagira. Ekyokubanga Drogba yalimufirika, Ssemutono agamba nti kyamuyamba okwongera okuwagira ttiimu eno awamu nokutegera ennyo omupiira nga agoberera abazungu engeri gyebakolamu ebintu byaabwe.

Mirundi mingi abantu balemererwa okuwagira abantu baabwe nebawanuuza abebunayira, kuye Ssemutono, yayagala ayawukane. Amattiimu manji agaali gazannya omupiira omulungi mubulaaya ebiseera ebyo wabula Ssemutono agamba tegamusigula.

Okulaba omufirika nga azanyira ttiimu zabazungu ebiseera ebisinga tekibeera kyangu.

Bweyalaba Drogba nga atuuse kukula eryo, Ssemutono yasalawo yegatte mwaabo abawagizi battiimu eno lukulwe.

Bwoba nga wetegereza ebyaafaayo, Drogba yazalibwa kukyaalo kya Abidjan, wali mu Ivory Coast. Drogba yegatta kuttiimu ya Chelsea mu sizoni ya 2004 nga avamu kkiraabu ya Marseille eyebufalansa.

Wano Ssemutono annyumyaawo nobwegendereza. Nga bwayiwayo olwendo lwotuuzi, Ssemutono agamba nti tayinza kwelabira mbeera Drogba gyeyayitamu ebanga lyonna kuttiimu ya Chelsea.

Ssemutono ajukira bulungi ebiseera Drogba weyatawanyizibwa ennyo ekirwadde kyolubuto ekyamuvirako okumala akabanga kumbi kamweezi ebiri kundiri.

Agamba nti tebyaali byakusaaga. Olubuto lwaluma omuzannyi we era ebiseera ebyo yagenda nga mubikaali okulaba emipiira gya Chelsea yayenga amala galaba olwa Drogba obutabamu.

Bweyawonna, nakomawo mukisaawe, Ssemutono agamba omutima gwe gwadda engulu. Yatandikira weyali yakoma okumuwagira. Bwobanga wetegereza bazannyi batono nnyo ababadeko mu Chelsea nga bafirika nebasinga Drogba.

Ng’omuzannyi Drogba yakola bulikimu kumpi okusobola okuwanguza Chelsea buli lweyalabikangaako mumujoozi gwaabwe ogwa bbulu.

Drogba yayatikirira nnyo mukkiraabu eno mubiseera byomutendesi Jose Mourinho. Drogba yayagala nnyo Mourinho okusinga abatendesi bonna abamutendekeko ku Chelsea.

Ebanga lyeyamalawo, yasobola okubawangulira ebikopo 12 nabatebera ne ggoolo 157 mumipiira 341 gyeyabazannyira.

Wabula yali teyatondebwa kufiira ku Chelsea. Mu 2015, bwebaali bazannya kkiraabu ya Sunderland, Drogba yategeeza bazannyi banne nga ogwo bwegwali omupiira gwe ogusembyeeyo mu kkiraabu eno.

Ekyembi mumupiira gwegumu, Drogba yafuniramu nobuvune era yasikizibwa omuzannyi Diego Costa. Ekyenjawulo ekyaliwo nti omupiira Chelsea yamala neguwangula 3-1 era gwajiwanguza nekikopo kya liigi.

Banji kubazannyi banne nga; John terry, Loic Remy ne Fabregas, bayisibwa bubi oluvannyuma lwa Drogba okugenda.

Bwobanga wetegereza, ezimu kunsonga Ssemutono zaawa ezamwagaza Drogba mulimu; obwagazi bweyalina nadala bwekyatuuka nga mukunonnya ggoolo, awamu nokumannya enaku ye ngomufirika.

Ssemutono agamba nti mirundi minji abazannyi nadala wano kulukalu lwa Afirika, bwebafuna omukisa gwokuzannya omupiira ebbulaaya berabira ekyabatwaala nebamaliriza nga balemereddwa okwaaka.

Annyumya, nti Drogba bweyava mu Marseille okwegatta ku Chelsea kyaali kintu kyamanyi nnyo era ye yakisanyukira nembatu ze ezengalo bbiri.

Ebbanga lyonna Drogba weyaberera omuzannyi wa Chelsea, yayagalanga nnyo omujoozi gwe okulambibwako nnamba 11.

Ssemutono kukino agamba nti teyakirinako buzibu. Abazannyi banji abamannya abaali bambala ennamba eno, naye Drogba yajifuula eyamanyi.

Ssemutono agamba nti ebiseera ebisinga abazannyi bomupiira buli webesiba kukintu bateera okukijamu omwaasi.

Drogba weyesiba kunnamba 11 olwensonga nti abazannyi abali bajambadde mu kkiirabu ya Chelsea nga; Dennis Wise baali bamanyi naye kyamufuula owamanyi.

Bwatunulira ttiimu ya Chelsea mukaseera kano wansi womutendesi, Maurizio Sarri waliwo ebintu bingi ebize bikyuuka.

Annyumya nti Chelsea nga kkiraabu tasobola kujivaako, atooba nebweddayo mukibinja kyowansi wakusigala nga ajiwagira.

Oluvannyuma lwokufuna omuteebi Gonzalo Higuaín eyabegaseeko kubanja okuva mu ttiimu ya Juventus, Ssemutono agamba nti bakuvuganyiza ne Liverpool ku kikopo kya liigi.

Kubutaka Villa yemusingira

Ng’ogyeeko Chelsea, tewali ttiimu ndala mu liigi yawano Ssemutono gyawagira nga si SC Villa.

Ono agamba nti Villa ajiwagidde kuvakumirembe gyabazannyi Majid Musisi ne Isaac Ssemwanga. Kuye, bebaali bamusingira.

Negyebuli kati Ssemutono awagira Villa yadde nga arina ensonga ezimuluma ng’omuwagizi.

Ssemutono agamba nti mubiseera Villa weyakomerawo e Masaka, ngomukulembeze womupiira ateera omuwagizi, kino yakisannyukira.

Okukomawo kwa Villa kwamuyamba okufuuna ettoofaali kwalinnya okwongera okunyikiza enjiri yokuza omupiira gwe Masaka engulu wabula abakulembeeze battiimu eno tebamulabamu mulamwa.

Ssemutono agamba nti Villa, kuye akimanyi nti ttiimu yabantu siyamuntu sekinoomu abakulembeeze abaliwo ensangi zino kyeberabidde.

Kumulembe gwa Patrick Kawooya, Ssemutono agamba yaliwo. Wadde nga teyalina bumanyirivu mumupiira bumala alowooza nti Kawooya yali wanjawulo.

Simukukumakuma bawagizi kyokka, wabula nemukulaba nga kkiraabu eno esigaza ekitiibwa kyaayo Kawooya yafangayo.

Mukaseera nga buli muzannyi ayitimuka ku Villa yatundibwa, Ssemutono agamba nti alimu okutya nadala butya ttiimu wenasobolera okuvugannya ne ttiimu ennene.

Ensangi zino agamba nti amanyi gonna agenda agajja ku kkiraabu ya Villa olwensonga nti yatandikawo ttiimu ye emanyiddwa nga Vision FC.

Ttiimu eno, ngakati ezanyira mukibinja ekyokusatu e Masaka, Ssemutono agamba gyasazeewo okuwa obudde.

Lwaaki ebyemizannyo biserebye e Masaka?

Ng’omukulembeze womupiira e Masaka, Ssemutono agamba nti bagezaako okola obutaweera wamu nomukyaala Florence Nakiwala Kiyingi okulaba nga omupiira e Masaka gudamu okubeera ogwetunzi.

Kibaluma, eranakati kibaswaaza okulaba ekitundu nga Mbarara kisobodde okubayitako nekifuna ne ttiimu Mbarara City FC eguchangira kati muliigi.

Oluberyeberye, Ssemutono annyumya nti waliwo amattiimu nga; Masaka Union, Masaka LC ezazannyanga mu liigi wabula nezisanawo mu 1986 ne 2015. Emabega wabangawo nettiimu nga; Masaka Stars ne Nyendo United ezakwatanga abantu omubabiro naye nazo tezalutonda.

Muli baloge?

Nedda. Agamba nti bweyetegereza, okuvawo kwa Vincent ‘Bamulangaki’ Ssempijja mukaseera kano akola nga minisita webyokwerinda kyabakubawala.

Ssemutono, annyumya nti kumpi omupiira gwonna gwali gutambulira ku Ssempijja, nadala ebanga lyeyamala nga yatwala Masaka LC era bweyavaawo alinga eyagenda nagwo.

Bweyagenda, Ssemutono agamba nti bakyabuliddwa omuntu ayinza okubakwasizaako okusobola okugonjoola ekizibu kino.

Ssemutono era agamba nti waliwo abazannyi abasookera e Masaka nga; Tony Mawejje abasubiza okubayambako okudabulula ebyemizannyo naye babula nga balongo.


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com
Share1Tweet1SendShare

Related Posts

RDC George Owanyi engaging the meeting
News

Nakapiripirit RDC George Owanyi teams up with Karamoja Anti-Corruption Coalition to intensify fight against corruption 

30th June 2025 at 09:21
Op-Ed

RICHARD BYAMUKAMA: The Legitimacy of South Sudan’s Government Hangs in the Balance

29th June 2025 at 23:59
News

President Museveni salutes First Lady for her contribution to Uganda as she celebrates 77th birthday 

29th June 2025 at 21:56
Next Post
John Mary Odoy

JOHN MARY ODOY: The presidency; Uganda’s Number One problem

  • Prostitution in Uganda- Courtesy Photo

    10 dangerous hotspots known for prostitutes in Kampala

    1098 shares
    Share 439 Tweet 275
  • LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

    2282 shares
    Share 913 Tweet 571
  • Uganda’s Billionaires 2025: Once Again Sudhir Ruparelia Leads a Resilient Pack

    38 shares
    Share 15 Tweet 10
  • Pastor Bugingo Seeks Reconciliation with Teddy and Children, Prays for Makula’s Twins

    18 shares
    Share 7 Tweet 5
  • LIST : Gov’t releases Revised Salary Structure for Teachers, Police, and Prisons Staff for FY 2024/2025

    111 shares
    Share 44 Tweet 28
Facebook Twitter

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Latest News

Dr. Ayub Mukisa (Ph.D.)

Dr. Ayub Mukisa: Will Karamoja Feel the Money in the UGX 72.376 Trillion Budget of 2025/26?

1st July 2025 at 08:15
RDC George Owanyi engaging the meeting

Nakapiripirit RDC George Owanyi teams up with Karamoja Anti-Corruption Coalition to intensify fight against corruption 

30th June 2025 at 09:21

Check out

  • Trending
  • Comments
  • Latest
Minister Muruli Mukasa

LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

24th May 2020 at 10:45
Pregnant woman

Shock as 17-year old boy impregnates his two sisters during Covid-19 lockdown 

17th June 2020 at 08:17
Sudhir Ruparelia is set to speak at business forum in United Kingdom

Billionaire Sudhir’s wisdom on how to invest in real estate

0

How a boy’s destiny turned from cotton grower to communications guru

0
Dr. Ayub Mukisa (Ph.D.)

Dr. Ayub Mukisa: Will Karamoja Feel the Money in the UGX 72.376 Trillion Budget of 2025/26?

1st July 2025 at 08:15
RDC George Owanyi engaging the meeting

Nakapiripirit RDC George Owanyi teams up with Karamoja Anti-Corruption Coalition to intensify fight against corruption 

30th June 2025 at 09:21

© 2025 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News

© 2025 Watchdog Uganda