ABADDE Ssentebe wa Disitulikiti ye Kayunga munnaNUP Ffeffekka Serubogo Muhammad afudde.
Ono asangiddwa ku makya g’olwokusatu nga alengejjera ku muti oguli okumpi n’amakaage mu Kayunga.
Kigambibwa nti ono afulumye ku makya nga agenda okufuna wuzu, n’oluvanyuma atendereze ku mutonzi, nti kyokka ab’omumakaage bagenze okulaba nga tadda kwe kwetoloola bagezeeko okumunoonya n’oluvanyuma bamusanze yeyimbyemu ogw’akabugu nga alengejja, era nga n’omukka gwamuweddemu dda.
Okusinziira ku akulira ekibiina kya NUP mu Ggwanga Robert Kyagulanyi Sentamu akakasizza amawulire gano, era nagamba nti mu kiseera kino bafuna amawulire okuva wansi mu bantu nga bagamba nti oba oli awo Sserubogo yandiba nga yattiddwa buttibwa oluvanyuma n’awanikibwa ku muti waggulu.
Okusinziira ku mukutu gwe ogwa Face Book Kyagulanyi agambye nti amawulire gano gabakubye wala nga aba NUP naddala ab’eKayunga, nasaasira ab’omumaka ga Sserubogo saako ne mikwano.
Ono abadde amanyiddwa nnyo nga omusajja ateerya ntama naddala ku nsonga za Buganda n’obuyisiraamu, era nga ono yoomu ku memba b’olukiiko lwa Buganda ababadde basinga okumala ebbanga eddene nga bakiika.
Yaliko mu kibiina kya DP, era nga yesimbawo kko mu mukono Munisipality ku kifo ky’obwa Meeya ebintu ne bitagenda bulungi, kwe kudda e Kayunga gyazaalibwa neyesimbawo ku kifo ky’obwaSsentebe bwa Disitulikiti ku kaadi ya NUP era nawangula.
Abadde atekateeka kukola kabaga nga ayozayoza abantu be ab’eKayunga okumulonda, okusinziira ku bamu ku bamubadde ku lusegere.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com