Owiny DOMUKULEMBEZE we kibiina kya National Unity platform NUP, era nga yavuganyako ne ku kifo ky’obukulembeze bwe Ggwanga Hon. Robert Kyagulanyi Sentamu mu ngeri eyewunyisa asazeewo aggye enta mu musango ye kenyini gwe yawaaba nga awakanya ebyali ne byava mu kulonda okwaliwo nga 14 January Omwaka guno.]
Ono nga wakayita ennaku 10 zokka nga okulonda kuwedde wamu ne bannamateeka be yatwala omusango mu kkooti oluvanyuma lwa kakiiko ke by’okulonda okulangirira Yoweri Kaguta Museveni nga omuwanguzi.
Mu mpaaba ye Kyagulanyi yalaga nti mu kulonda kuno mwetabikamu ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu biyitirivu saako n’akalulu ke okuba nti kaakwatibwamu.
Ono era mu wiiki ewedde yalaga obutali bumativu eri ekitongole ekilamuzi naddala kkooti ensukkulumu, gye yayogerako okulabika nga eyinza obutakwata nsonga ze mu bwenkanya nga akissa ku Balamuzi 3 abali mu mitambo gy’omusango okuli Ssabalamuzi yenyini Alphonse Owiny-Dollo, Omulamuzi Mike Chibita ne Ezekiel Muhanguzi okuba ne kyekubiira.
Wabula bino byonna olwaggwa mu matu ga Ssabalamuzi Dollo nayambalira Kyagulanyi okuba nti teri yamutuma kuleeta musango gwe mu kkooti, era namutegeeza nti alabika amalira kkooti biseera, ekilabika nti nayo nsonga nkulu eyamalamu Kyagulanyi amaanyi okugenda mu maaso n’omusango mu kkooti ensukkulumu.
Kyagulanyi era yalaga obutali bumativu olwa Kkooti okugaana okuleeta obujulizi obulala obulumiriza munne bwe baavuganya Yoweri Kaguta Museveni saako n’akakiiko ke by’okulonda nga bavuluga okulonda kwonna saako n’okunyaga obululu bwe misana gwaka.
“Twagenda mu kkooti eno si kuba nti twasuubirayo obwenkanya, wabula twayagala tulage bannaUganda nti ekitongole kino tekyetengeredde nga kikola emirimu gyakyo” Kyagulanyi bwe yagambye.
Mu kusooka bannamateeka be kibiina kya NRM nga bakulemberwa Oscar Kihika baalabudde Kyagulanyi ku by’okuggyayo omusango mu kkooti era ne bamulabula ku biyinza okuddirira omuli n’okumusasuza omusimbi omungi olw’okubononera obudde.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com