OKUWENJA akalulu mu kitundu kya Mukono North oba Kiyite amambuka ga Mukono kwatandise ennaku 3 emabega, nga eno abeesimbyewo okuli Minisita wa mazzi Ronald Kibuule, munnamateeka Kiwanuka Abudallah nabalala bayingidde ebyalo okusobola okuwenja obululu obunabatuusa ku buwanguzi.
Ekitundu kya Mukono North kilimu amagombolola 2 gokka okuli Nama ne Kyampisi, era nga bano buli omu mwana nzalwa mu limu ku go.
Ronald Kibuule azaalibwa ku kyalo Nakapinyi ekisangibwa mu gombolola ye Nama ate Kiwanuka ye Namasumbi mu Gombolola ye Kyampisi.
Bonna bavubuka bato bali wakati wa myaka 35 ku 40, nga ekisinga okubawula bye bibiina by’obufuzi bye balimu kubanga Kiwanuka wa National Unity Platform NUP ate Kibuule wa National Resistance Movementi NRM.
Bonna beebakwatidde ebibiina byabwe bendera.
Okusoma kwabwe Kibuule yakuguka mu kusitula mbeera zabantu ne bye kijaasi, ate Kiwanuka munnamateeka.
Okukola Kibuule ye mubaka we kitundu kino era Minisita omubeezi owa mazzi ate kiwanuka akolera mu kkampuni ya bannamateeka emanyiddwanga Lukwago And Compony Advocates mu Kampala.
Bonna baganzi nnyo mu bantu naddala mu bitundu mwe bazaalibwa era nga kikakasiddwa nti buli omu ewaabwe awangulayo, wabula ekibuuzo kiri nti ani anasinga abalonzi abangi?
Kibuule awagirwa nnyo Gavumenti eri mu buyinza eya NRM ne Pulezidenti museveni ddala mu maaso ge Kibuule muganzi okusinziira ku bannaMukono.
Kiwanuka okuva emabega abadde ku ludda oluvuganya era naye nga aewebwa ekitiibwa nga munnamateeka alwanirira ab’oludda oluvuganya bwe baba nga bakwatiddwako.
Ekitundu kino ekye Mukono North kiweza abalonzi abakunukkiriza mu 1,5000, era nga ekitundu kino kikuze nga obutawuni n’abavubuka bangi ddala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com