ABATUUZE mu Ssaza lye Katikamu South kyadaaki batandize okufuna esuubi ly’okuddamu okunywa ku mazzi amayonjo saako ne nguudo ez’omulembe oluvanyuma lwa Ssentebe wa Bakyala mu Disitulikiti ye Luwero Patricia Magara okuvaayo nayanukula okukaaba kwabwe okumaze ebbanga eddene.
Abantu mu kitundu kino bamaze ebbanga ddene nga Naikonto gye baali bakima amazzi mu kitundu kyabwe nga zonna zaafa, ate nga bwotuuka mu nguudo ze bakozesa okutambuza ebyamaguzi byabwe zonna zaafuuka bisinde bya Nte.
Wabula kuluno bagenda kufuna ku buwerero oluvanyua lw’okulaba Ttiimu ya ba Yinginiya nga bazze mu kitundu kyabwe mu kawefube eyagendereddwamu okutongoza omulimu gw’okulima enguudo wamu n’okuddabiriza nayikonto zekitundu kyabwe ogw’awomeddwamu munnamateeka era Sentebe wa bakyala mu Luwero Patricia Magara.
Omulimu guno gwagutandikidde ku kyalo Bibbo mu muluka gwe Kalasa e Luwero nga eno enguudo zonna abatuuze zebakozesa okutambula nga bagenda ku mirimu gyabwe saako n’okutambuza ebyamaguzi okubitwala mu butale zigenda kulimibwa.
Ttiimu ya ba Yinginiya era tegenda kuleka Naikonto yonna mu kitundu kino nga teddabiriziddwa, kubanga abatuuze eno babadde bamaze ebbanga ddene nga abawanjagira abakulembeze kyokka nga tebafaayo.
Bwe yabadde atongoza omulimu guno, Magara yategezeza nti mwetegefu okulima kilomita ezisoba mu 150 nga zino ziyita mu miruka 9 egiri mu kitundu kino.
Magara yanyonyodde nti kino akikoze olw’okulumirirwa abantu b’omukitundu kino naddala mu kiseera kino nga ayagala okubakiikirira mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu mu kulonda kwa 2021.
Agamba nti ekitundu kino kisigalidde nnyo emabega olw’okulonda abantu abatafaayo kuteseza kitundu, nagamba nti wakulwana okulaba nga nga anunula abantu be bave mu mbeera gye balimu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com