MINISITA wa Micro-Finance era nga ye mubaka akikiirira e Ssaza lye Kyotera mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Kyeyune Harunah Kasolo awaddeyo ensimbi obukadde 20 bwe yafuna okuva mu Palimenti eri olukiiko olwalondebwa okulwanyisa ekirwadde kya Covid 19 mu Disitulikiti ye Kyotera babukozese emirimu.
Minisita Kasolo agamba nti kituufu ensimbi zino yazifuna era asazeewo azikozese omulimu ogwazimugisizzaayo kubanga abantu baakiikirira baakoseddwa nnyo ekirwadde kino.
Ensimbi zino yazikwasizza Omubaka wa Gavumenti e Kyotera Rt. Maj. David Matovu ku lw’okusatu eyamusisinkanye wamu n’akakiiko akalondebwa okulwanyisa covid e Kyotera.
Matovu yasiimye Minisita Kasolo era neyeyama ye ne banne okulaba nga bakozesa ensimbi zino mu bulambulukufu namazima.
“Ekyamazima tubadde tulina obwetaavu bw’okufunira abantu baffe emmere, amafuta mu mamotoka agatuyambako okutambuza abantu okubatwala mu malwaliro saako n’abasawo baffe, kale ensimbi zino zigenda kutukolera bulungi era Minisita tujja nakumuwa embalirira yaazo” Matovu bwe yagambye.
Bino we bijjidde nga omukulembeze we Ggwanga ku lw’okubiri yategezezza ababaka ba Palimenti nti balina okukozesa ensimbi 20 ku ebyo byenyini bye bazisabira, era nabategeeza nti balina okuzanjulira abakulira abakozi ku ma Disitulikiti gye bava saako n’obukiiko obwalondebwa okulwanyisa ekirwadde kya Covid19.
Yabalabude nti singa tebakola ekyo bayinza okukakibwa okuzikomyawo nti kubanga ne mukiseera kino zikyaliko envumbo mu kkooti.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com