SSABAWANDIISI we kibiina kya NRM Justine Kasule Lumumba akinoganyizza nti enkola y’okusimba mu mugongo mu kulonda akamyufu ka NRM tegenda kukyuka nga abamu bwe babadde bagamba, nagamba nti bakizudde nga yesinga obulungi kubanga egenda kukendeeza ku mivuyo.
“Okulonda okwaggwa twafuna ebizibu bingi nnyo nga ekibiina, era bangi ku baali beesimbyewo ne batandika okwemulugunya ekyaleetera nabamu okwesimbawo nga abantu nga kino kyakosa ekibiina mu ngeri ezitali zimu, naye kati twasalawo okulonda kwamumugongo tewali kigenda kukyuka kubanga twakizuula nti enkola eno eggwanga bwe lyagikozesa mu kulonda kwa LC 1 buli kimu kyatambula bulungi ate nga tekyetagisa nsimbi nnyingi” Lumumba bwe yagambye.
Yagambye nti okulonda nga bakozesa obupapula kyaleetawo ebizibu bingi omwali n’okubba obululu bannakibiina abaali beesimbyewo ne bawaaba emisango mingi, nti naye kati enkola y’okusimba mu mugongo balaba elimu amazima era yeegenda okukozesebwa mu kulonda kwa 2020 okwekibiina.
Okwogera bino yabadde mu lusilika lwe kibiina kya NRM abali mu kitundu kye Kasese olwamaze ennaku 3 ku ssomero lya Rwenzori High School mu Ibanda Town Council.
Lumumba yenyamidde olw’abantu ba NRM mu kitundu kye Kasese okukkiriza ab’oludda oluvuganya okubatwalako ebifo byonna, nabajjukiza nti ekitundu kye Rwenzoori kye kyasooka okuwagira NRM nga ebitundu ebilala tebinaba neyewunya lwaki abantu be Kasese baasalawo okulinnya mu nsuwa yaabwe ne bayiwa amazzi agaalimu gonna.
“Kati tuli mu kunoonya sente ezigenda okutuuza olukiiko ttaba miruka olwe kibiina mwenna mujje tusobole okusalira awamu amagezi agagenda okutwala ekibiina kyaffe mu maaso” Lumumba bwe yayongeddeko.
Bbo bannaNRM bamusabye ategeeze omukulembeze we Ggwanga nti betaaga ettaka lyabwe yiika eziwerera ddala 650 ezisangibwa e Mubuku liweebwe abavubuka , Abakyala n’abaliko obulemu libayambe okwekulakulanya.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com